Bya Pauline Nanyonjo
Bulange-Mmengo
Okugula emijoozi eginaakozesebwa mu kudduka emisinde gy’amazaalibwa ga Kabaka kwagguddwawo mu butongole gye buvuddeko kale nga abantu abenjawulo batandise okwefunira obujoozi bwabwe ku mitwalo ebiri kitundu (25,000).

Ekibiina kya Baganda Nkobazambogo ekya South Sudan kyefunidde emijoozi gaakyo 100 nga gino gibakwasiddwa minisita w’Amawulire Israel Kazibwe Kitooke ku Bulange e Mmengo.Mu kubakwasa emijoozi gyabwe minisita Kazibwe anyonnyodde nti wadde bannankobazambogo bano bawangalira mu kitundu ekirimu obutabanguko bafuba okukuuma obumu mubo ate ne bekulaakulanya.
“Bannaffe bano abawangaalira e South Sudan balina okusoomozebwa kungi eyo gye bakolera kuba waliyo entalo naye bekumaakuma ne bekolamu emirimu egitali gimu kuba gye buvuddeko baagula ettaka eriri mu yiika 10 kale tubaagaliza emisinde emirungi” Minisita Kazibwe bwanyonyodde.
Minisita Kazibwe akunze abantu ba Kabaka okweyuna ebifo omutundibwa emijoozi okugifuna nga obudde bukyali baleme kutawunkana kuginonya mu kadde kasembayo.
Ye ssentebe wa Nkobazambogo mu South Sudan Kato Ssonko Lutaaya alaze nti nabo bazze baba n’enteekateeka y’emisinde gyamazaalibwa ga Beene ey’enjawulo mu kibuga Juba mu kufuba okulaga abaana n’abavubuka abazaalidwa mu South Sudan obuvo bwabwe kyokka n’okuggumiza omulamwa gwa Nyininsi Kabaka ogw’okumalawo akawuka akaleeta mukenenya mu bantu be nga 2030 tanatuuka.
Mw. Ssonko alaze nti bakola n’ebitongole ebyenjawulo mu kudduka emisinde gino okuli South Sudan Aids Commission abasaale mu kulwanyisa okusaasana kwa Kawuka akaleeta mukenenya mu South Sudan ate n’aba South Sudan Red cross ababawa ambulance okuyamba ku baddusi ababa bazitowereddwa kyoka mu kiseera ky’emisinde wabaawo n’omwaganya gw’okugaba omusaayi mu South Sudan Blood bank okusobola okutaasa obulamu bwabantu abagwetaaga.
Omuntu yenna eyetaaze omujoozi gw’okudduka emisinde gy’amazaalibwa ga Beene akubiriziddwa okugufuna mu budde ku Bulange e Mmengo, ku Masengere, ku mbuga za masaza agenjawulo wamu ne ku basuubuzi ab’enjawulo abagituusa mu bantu ba Kabaka.









