Bya Samuel Stuart Jjingo
Mmengo – Kyaddondo
Akakiiko akakebera n’okutangira obulwa mu nzirukanya y’emirimu mu Bwakabaka, ka BARC, katudde mu lutuula lwako olusoose mu mwaka 2026, okukubaganya ebirowoozo ku Alipoota ya Kalondoozi w’Obwakabaka ku Nzirukanya y’Emirimu mu kitongole ki Ssuubiryo Zambogo SACCO, ate n’Okuwuliziganya n’abatwala ekitongole kino ku byazuulibwa Kalondoozi w’Obwakabaka.
Olutuula luno lukubiriziddwa Ssentebe w’akakiiko era Omumyuka Asooka owa Katikkiro, Oweek. Prof. Twaha Kaawaase Kigongo, letabiddwamu ba mmemba abalala okuli; Oweek. Zulaika N. Kibirige, Akulira Kawempe Muslim SSS, Omuk. Uthman Mayanja, akulira ekitongole (Audit Firm) Price Water House Coupers (PWC) ne bammemba abalala.
Alipoota ezigenda mu makiiko kano zanjulibwa Kalondoozi w’Obwakabaka Omuk. Andrew Kalule ng’ayambibwako Omumyuka we Omw. Daniel Lukabwe era Omuwandiisi w’ekikugu akwanaganya emirimu gyonna (cordinator) mu woofiisi ya Kalondoozi.
Aba Ssuubiryo Zambogo SACCO bakulembeddwa Minister w’Abavubuka, Emizannyo n’Ebitone, Oweek. Ssaalongo Robert Serwanga, Oweek. Hassan Kiyimba avunanyizibwa ku nsonga z’Abavubuka mu Bwakabaka, Oweek. Joseph Balikuddembe Ssenkusu ng’ono ye Ssentebe w’Olukiiko olufuzi olwa SACCO, Omuk. David Ssemakula ng’ono ye Ssentebe w’olukiiko olulondozi mu SACCO, Omuk. Gorreth Nassuuna ng’ono ye Ssenkulu wa SACCO ssaako Omuky. Gorret Nabulime ng’ono y’avunaanyizibwa ku by’ensimbi mu kitongole kino.

Akakiiko kalagidde aba Essuubiryo Zambogo SACCO bakole ku nsonga zonna ezinokoddwayo Kalondoozi w’Obwakabaka amangu ddala, era bamuwe alipoota eraga wa we batuuse mu kuteeka mu nkola amagezi g’abawadde ku buli nsonga, wakati mu kwetegekera okulungamizibwa bbanka ya Uganda enkulu ng’etteeka bwe ligamba.









