Bya Pauline Nanyonjo
Mmengo-Kyaddondo
Omumyuka Asooka owa Ssekiboobo era omutandiisi w’amasomero St.Marys’ College Lugazi ne Mother Kevin College Mabira, Owek. Moses Kiyimba Ssenyonjo asiimiddwa olw’okuteekateeka olusirika lwa Abataka Abakulu b’Obusolya olw’omwaka oguwedde 2025.
Olusirika luno lwesigamizibwa ku mulamwa ‘Tunyweze Ebika, Tukuume Namulondo’ nga lwetabwamu Abataka abakulu Ab’obusolya ne ba Katikkiro baabwe wamu n’abakulembeze b’abavubuka mu bika okumala ennaku 2 ku St. Mary’s College e Lugazi.
Minisita w’Obuwangwa n’Ennono Owek. Anthony Wamala y’atuusizza okusiima kw’Obwakabaka eri Oweek Ssenyonjo n’amwebaza olw’omutima oguyayana okutwala Buganda mu maaso okuyita mu kuyitimusa ebika okuyita mu kusomesa abantu abatali bamu.
“Oweek Ssenyonjo yakola enteekateeka omwaka oguwedde n’ateeka ensimbi mu kusomesa n’okuyigiriza Abataka b’Obusolya ne bakatikkiro baabwe, n’abakiise b’abavubuka mu lusirika olwayindira ku St.Mary’s College Lugazi nga alusasulidde buli kimu okumala ennaku bbiri, kale njagadde tumwebaze olw’omutima ogwo ogwagala n’okulumirirwa Obwakabaka bwa Buganda kubanga asitula ekika aba asitula Buganda” Oweek Wamala.

Ye Oweek Moses Kiyimba Ssenyonjo alaze essanyu nti enteekateeka gye yakola e Lugazi yakkirizibwa Obwakabaka era n’eteekebwa mu nkola, anyonnyodde nti waliwo essuubi ery’okugenda mu maaso n’enteekateeka eyo naye nga essira liteekedwa mu kubangula abaana b’abataka ab’enkizo nga kino essuubi ly’akirinamu nti abasika b’Abataka baakubeera wakiri n’obukugu obwenjawulo mu bukulembeze.
Oweek. Ssenyonjo aweeredwa ejjinja ery’omuwendo okuva e Mbuga nga limusiima olw’omutima omwagazi ogw’okutwala Buganda mu maaso nga ayita mu kusomesa Abataka.









