Bya Samuel Stuart Jjingo
Luweero – Bulemeezi
Woofiisi y’Obuwangwa n’Ennono mu Bwakabaka nga bakwataganye wamu ne woofiisi y’Omubaka wa Pulezidenti e Luweero bagaddewo Embuga esangibwa ku lusozi Walussi mu ssaza Bulemeezi mbagirawo oluvanyuma lw’abawangaalira wano okutta omwana ow’emyaka 14 mu bikolwa by’okusaddaaka, bbo bye balowooza mwe banaayita okufuna obugagga.

Kino kiddiride okubeera nga akola nga atwala ekifo kino Mw. Mukiibi yeekubira enduulu mu Bwakabaka bwa Buganda wamu ne mu bakuumaddembe okumuyamba okuggalawo ekifo kino olw’abantu abasusse yo obungi nga ne bye bakola tebitegerekeka.
Woofiisi y’Obuwangwa n’Ennono mu Bwakabaka nga ekulembeddwamu Ssentebe waayo era Jjaja w’Olulyo Olulangira mu Bwakabaka bwa Buganda, Ssaalongo Luwangula Basajjansolo ng’ali wamu n’amyuka Omubaka wa Pulezidenti e Luwero Mw. Sulaiman Kulubya bakubye olukiiko ku mbuga eno okusala entotto bwe bayinza okuzza embeera mu nteeko.
Omulangira Luwangula avumiridde ebikolwa by’okusadaaka abantu ebikyase ensangi zino n’alabula n’abo abafuula ebifo bino amaka gaabwe nti kya kubajuutuka era bwatyo abawadde amagezi okwamuka ekifo kino nga tewali kyakoleddwa.
Ye amyuka Omubaka wa Pulezidenti, Mw. Kulumba agamba nti ebikolwa nga bino bya butemu era alabudde abo bonna abalowooleza mu bugagga obw’amangu bagende bakole bave mu kwenyigira mu bikolwa eby’obutemu nga bino.
Akola nga atwaala ekifo kino, MW. Muwanguzi Mukiibi, yekokkodde effujjo erikolebwa mu kifo kino ng’ategeeza nti yagezaako kyasobola okugobamu abantu naye n’alemererwa.Ekifo kino kigaddwa okumala ennaku 10 nga okunonyereza bwe kugenda mu maaso.
Kimera Ssaava ow’emyaka 14 kigambibwa nti yasaddaakibwa mu mbuga eno era abakuumaddembe e Luweero ne bagombamu obwala omutuuze Kalyango Mwanje agiyambeko mu kunonyereza.

Olukiiko luno lwetabiddwamu Omukwanaganya wa Minisitule y’Obuwangwa n’Ennono mu Bwakabaka, Mw. Patrick Sseruwagi awamu n’akulira abasawo b’ekinnansi mu ggwanga Nnalongo Nansamba Mutongole n’abantu abalala bangi nnyo. .









