Bya Samuel Stuart Jjingo
Mmengo – Kyaddondo
“Obulambuzi butunuliiddwa Obwakabaka nga ekimu ku birina okuyingiza ensimbi mu Buganda” Minisita Wamala.
Minisita w’Obuwangwa n’Ennono Owek. Dr. Anthony Wamala assisinkanye abaweereza bonna mu kitongole ky’ebyobulambuzi eky’Obwakabaka ki Buganda Tourism Heritage and Tourism Board e Mmengo.

Minisita Wamala bano abajjukiza nti obulambuzi butuunuliddwa nnyo Obwakabaka nga erimu ku kkubo erigenda okusinga okuvaamu ensimbi bw’atyo abakubiriza okukola obutaweera okwenyigira obuterevu mu nteekateeka ya #SitulaOmutindo etembeetebwa Obwakabaka omwaka guno kibasobozese okutuuka ku kkula lino.
Oweek. Wamala akuutidde abakozi b’ekitongole okukulembeza obwagazi nga bakola emirimu gy’ekitongole kino n’ekiruubirirwa nti kigenda kusituka. Wano abategezeeza nti ebintu nga obuwangwa, ennono n’obulambuzi by’ebimu ku bintu by’otasobola kuggya ku Baganda era byakubeerawo lubeerera bw’atyo abasabye okwongeramu amaanyi mu nkakalabya y’emirimu.
Minisita alabudde abakozi ku kabaate akali mu kunyooma omulimu gwe baliko n’abasaba okugutwala nga eky’omuwendo mu bulamu bwabwe kubanga be basinga okufunamu era baasanidde okukola okusinga ku bye bateekeddwa okukola olwo ekitongole kigaziye ennyingiza yakyo.

Ye Ssenkulu w’Ekitongole kino Omuk. Najib Nsubuga Ssekikubo musanyufu nnyo olw’okukyaza Minisita era amwebazizza nnyo entanda gy’abasibiriridde ey’okusitula omutindo nga yeyamye okwongera okuteekateeka abantu awamu n’okubasikiriza okwagala obuwangwa bwabwe beyagalire mu mbeera gye bawangaaliramu.









