Bya Robisha Ssemugenyi
Mpumudde-Kabula
Mu kaweefube w’okwongera okukulaakulanya abantu ba Beene okuyita mu kuwola ensimbi, okuzisiga wamu n’okutereka ekitongole ky’obwegassi ki CBS PEWOSA kyongedde okulanda nga kati kigguddewo ettabi mu Ssaza Kabula mu ggombolola ya Musaale Mpumudde, okuggumiza empeereza zaakyo okusembera eri Bannakabula.
Minisita w’ebyobulimi, Obulunzi, Obuvubi n’Obweggassi Hajji Amis Kakomo y’agguddewo ettabi lino n’asaba bannakabula okwongera okugula emigabo mu kitavu ky’ensimbi kino, gisobole okubazaalira ensimbi ezekubisizaamu. Kyokka era asabye abaddukanya ettabi lino okukulembeza obwerufu mu mirimu gye bakola.

Minisita Kakomo era asanyukidde eky’olukiiko olufuzi olwa Kabula CBS PEWOSA okunyiikira okuwa ba mmemba entebya okuyita mu lukiiko olutuuzibwa buli mwaka.
Ssentebe wa bboodi ya CBS PEWOSA Kabula SACCO Oweek David Luyimbaazi yebaziza nnyo bannakabula olw’okubesigisa ensimbi zaabwe ekiseera kino kyonna nga tebalina kitebe kirambulukufu okutuuka lwe bazimbye woofiisi we bakakkalabiza emirimu gya Ssaabasajja.
CBS PEWOSA SACCO yatindikibwawo ng’omulandira gwa leediyo CBS mu kwongera okutuusa obuweereza obugoba obwavu mu bantu ba Kabaka era kati egenda esaasanyizibwa mu bitundu eby’enjawulo nga kati essira liri mu kulaba nga buli Ssaza kubeera n’ettabi.








