Bya Gerald Mulindwa
Buvuma
Katikkiro Charles Peter Mayiga alaze obwennyamivu olw’embeera y’ebyobulamu etasanyusa mu Ssaza Buvuma.
Buvuma y’emu ku disitulikiti ezisingamu amaka agatalina kaabuyonjo ekintu ekiraga nti bakozesa nnyanja okweyamba. Kino kiviiriddeko okubalukawo kw’endwadde naddala ezo eziva ku bujama ekireetedde abantu okufiirwa obulamu bwabwe.

Abakugu mu byobulamu bagamba nti endwadde abantu ze balwala ebitundu 70% ziva ku bujama. Kamalabyonna Mayiga asinzidde wano n’asaba abaami ba Kabaka bakubirize abantu bazimbe kaabuyonjo era banyiikire okunaaba mu ngalo bataase obulamu.
Okusaba kuno Katikkiro akukoledde ku ddwaliro Buvuma Health Center IV gy’atuuseeko okulambula n’okwekenneenya enzirukanya y’emirimu ku ddwaliro lino.
Obuvunaanyizibwa bw’okutumbula obuyonjo ku bizinga bino, Kamalabyonna abutadde ku baami ba Kabaka baagambye nti balina okufuba okulaba nga abantu ba Kabaka babeera balamu basobole okufuna empeereza ennungi okuva e Mmengo, n’abantu nabo bennyini basaanye okwefaako nga bakozesa ensimbi entono ze bafuna basoosowaze obujjanjabi era bajjukire nti obulwadde tebwewalika bw’otafaayo kufulumya nsimbi obulamu bukugendako.
Katikkiro era akubirizza abazadde bagemese abaana kibayambe okwetangira endwadde. Taleseeyo kubajjukiza nsonga ya mukenenya, azzeemu n’akubiriza abantu b’e Buvuma naddala abavubuka okwekuuma mukenenya, beewale okwegatta okwekyeyonoonero, bakozese bu kakuuma bulamu kubanga bwa bwereere mu malwaliro ga gavumenti. “Ebibalo biraga nti buli mwaka abantu 138 e Buvuma bakwatibwa mukenenya, kino kyeraliikiruza nnyo”.
Katikkiro era asisinkanye abakulembeze ba District y’e Buvuma ne bamutegeeza ensonga y’okuzimba eddwaliro eriri ku mutendera gwa Referral kyokka nga obuzibu tebalina kyapa ku ttaka lino. Kamalabyonna ababuulidde nti Ssaabasajja Kabaka yasiima basasuleyo akasente akatono ka bukadde 40 aka liizi ya myaka 99 era kino kyatuukibwako mu bbaluwa eyawandiikibwa Katikkiro nga erungamya ku kusiima kwa Beene.

Minisita w’Ebyobulamu n’enkulaakulana y’Abantu mu Bwakabaka, Oweek Choltilda Nakate Kikomeko, agambye nti Obwakabaka bufubye okuteekawo enjawulo mu by’obulamu, kati kiri eri abantu b’e Buvuma okwenyigiramu bave mu kulagajjalira obulamu bwabwe. Abakubirizza okusomesa abaana mu masomero g’Obwakabaka agatandikiddwawo ku Masaza.
Dr. Ndyanabo Remmie, akulira eddwaliro lya Buvuma health IV, ategeezezza okusomoozebwa kwe basanze mu kuweereza abantu b’e Buvuma omuli; ebbula ly’ebikozesebwa okugeza eddagala, entambula esobola okubatuusa ku bantu abali mu bizinga, abantu okwebuzaabuza nga tebaagala kukeberebwa, obwavu, n’abantu okutya okwekebeza.
Buvuma ye district ekwebedde mu kugemesa abaana bw’ogeraageranya ne district endala. Mu mwaka gwa 2017 Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II yalambula e ddwaliro lino era n’alitonera ebikozesebwa mu byobulamu ebiwerako. Obwakabaka bwabakana ne kaweefube w’okulwanyisa mukenenya wetunaatuukira mu mwaka 2030 nga afuuse lufumo.









