• Tutukiriire
Gambuuze
Advertisement
  • Omuko Ogusooka
    Owek. Mayiga akubirizza abakulira Abasomaali okwenyigira mu nteekateeka z’ Obwakabaka

    Owek. Mayiga akubirizza abakulira Abasomaali okwenyigira mu nteekateeka z’ Obwakabaka

    Minisita Anthony Wamala akubirizza abantu okuwandiika ebibakwatako okukuuma omukululo

    Minisita Anthony Wamala akubirizza abantu okuwandiika ebibakwatako okukuuma omukululo

    Owek. Mayanja akunze abantu okukuuma Obutondebwensi

    Owek. Mayanja akunze abantu okukuuma Obutondebwensi

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    Ab’e  Masaka balaajanye mu muwendo gwa baana ogweyongedde

    Ab’e  Masaka balaajanye mu muwendo gwa baana ogweyongedde

    Kaggo Magandaazi atuuzizza Abaami b’emiruka, Abasabye okukuuma  ekitiibwa kya Buganda

    Kaggo Magandaazi atuuzizza Abaami b’emiruka, Abasabye okukuuma  ekitiibwa kya Buganda

    Abantu ba Beene basabiddwa okutumbula obuyonjo nga bayita mu Bulungibwansi

    Abantu ba Beene basabiddwa okutumbula obuyonjo nga bayita mu Bulungibwansi

    Olukiiko olutegesi lulambudde ekifo awanaakwatirwa olunaku lw’Abavubuka mu Buganda

    Olukiiko olutegesi lulambudde ekifo awanaakwatirwa olunaku lw’Abavubuka mu Buganda

    Owek. Kakomo asabye abantu okunnyweza Obumu

    Owek. Kakomo asabye abantu okunnyweza Obumu

  • Agafa e Mengo
  • Emboozi
  • Endowooza
  • Ebisanyusa
  • Ag’Ebweru
  • Ebyemizzanyo
No Result
View All Result

Home Amawulire

Buganda ekuŋŋanyiza ensimbi ezikunukkiriza obuwumbi 2 okuva mu Luwalo mu 2025

Gambuuze by Gambuuze
February 10, 2026
in Amawulire
0 0
0
Buganda ekuŋŋanyiza ensimbi ezikunukkiriza obuwumbi 2 okuva mu Luwalo mu 2025
0
SHARES
10
VIEWS
Share on FacebookShare on Twitter

Bya Miiro Shafik

Mmengo – Kyaddondo

Obwakabaka bwa Buganda bwanjudde entebya y’oluwalo lwa 2025 eraga ensimbi ezaafunibwa okuva mu bantu ba Buganda mu miteeko egy’enjawulo n’engeri gye zaasaasanyizibwamu.

Omumyuka Owookubiri owa Katikkiro era Omuwanika wa Buganda Oweekitiibwa Robert Waggwa Nsibirwa ategeezeza Obuganda nti mu mwaka 2025, abantu ba Buganda bawaayo ensimbi akawumbi kamu n’obukadde lwenda n’ezisobamu (1,953,545,400) okuwagira emirimu gy’Obwakabaka. Ategeezezza nti zino ziraga okulinnya kwa bitundu 16% bw’ogerageranya n’ensimbi 1,686,199,406 ezava mu luwalo lw’omwaka 2024.

“Ensonga 5 zino ziyambye nnyo ku kulinnya kw’ensimbi eziva mu Luwalo; Ssaabasajja Kabaka okusiima n’alonda Abatongole n’Ab’Emiruka ne bongera okutuuka ku bantu, ensimbi z’Oluwalo okusaasaanyizibwa ku nteekateeka z’Obwakabaka ezaanukula obwetaavu bw’Abantu ssaako obwerufu obulagibwa ku nkwata yaazo obweyolekera mu Ntebya, Obunyiikivu n’obuyiiya mu Minisitule ya Gavumenti ez’Ebitundu, ssaako Abalezi n’Abaseesa, Obunyiikivu n’Obumu mu Baami ba Kabaka ssaako empuliziganya ennungi ne Minisitule ebatwala, n’enkolagana y’Abakulembeze b’Obwakabaka n’Abakulembeze abalala” Owek. Nsibirwa.

Ensimbi z’oluwalo ziva mu bantu ba Kabaka abakiika mu miteeko egy’enjawulo; eggombolola 169 ze zaakiika Embuga mu 2025, Amasaza ga Buganda e bweru wa Uganda 10, amasaza ga Buganda e bweru wa Buganda 5, ebibiina by’Abavubuka nga Nkobazambogo, amasomero, ebibiina by’obufuzi, abagenyi ba Katikkiro, abantu ssekinnoomu n’emiteeko emirala.

Essaza Kyaddondo lye lyasukkulumye ku malala mu kuwaayo ensimbi (406,541,100) ne liddirirwa Buddu (315,096,000), Busiro (203,904,400), Ssingo (189,619,800), Kyaggwe (156,992,251), Bulemeezi, Mawokota, Mawogola, Buweekula n’amalala ne gaddiriŋŋana. Ate mu ggombolola, eggombolola Mut. III Makindye ye yakize endala zonna, n’eddirirwa Ssaabagabo Nsangi, Mukulu wa Kibuga Lubaga, Mut. IV Kampala Masekkati, Mut. II Nabweru n’endala ne zigoberegana.

Ensimbi zino zisaasanyiziddwa ku mirimu gy’Obwakabaka egy’enjawulo okuli ebyobulamu, ebyenjigiriza, obuwangwa, n’enteekateeka z’oluwalo ku byetaagisa nga okukola Satifikeeti, okuliisa abakiise Embuga n’ebirala.Okusinziira ku Muwanika wa Buganda, ensimbi 319,405,000 zakozesebwa mu kutandikawo amasomero ga nnasale 13 mu Masaza g’Obwakabaka okuli Busujju, Gomba, Buvuma, Buddu, Kabula Busiro, Kyaggwe n’amalala. Ensimbi 196,151,534 zaakozesebwa okugula ebikozesebwa n’okutandika okuddukanya eddwaliro ly’e Businbi mu Ssaza Ssingo. Ensimbi 471,244,341 zo zaakozesebwa mu kuwagira emirimu gy’okuzzaawo amasiro g’e Kasubi agaamaliriziddwa omwaka oguwedde.

Okunnyikiza kaweefube wa Mmwanyi terimba kwasaasanyizibwako ensimbi 37,118,000, obukadde 94,000,000 zaawebwayo okuwagira okuzimba ekisaawe ky’e Buddu, obukadde 43,211,852 zaagenda mu byabulamu, ensawo ya Kabaka education fund yateekebwamu obukadde 55,583,650, enteekateeka ya Luwalo Lwaffe yateekebwamu ensimbi 88,810,000/= n’emirimu emirala.

Oweek. Nsibirwa yebaziza nnyo abantu ba Buganda naddala abaami b’Amasaza n’eggombolola olw’omulimu gwe bakoze okulaba nga oluwalo luno lwongera okulinnya buli mwaka.

Owek. Robert Waggwa Nsibirwa – Omuwanika wa Buganda

“Nneebaza nnyo abantu ba Ssaabasajja olw’okussa mu nkola enteekateeka z’Obwakabaka zonna naddala Luwalo Lwaffe era ensimbi ze muleeta Embuga zituyamba okutuusa obuweereza bwa Kabaka, ssente zonna ze mwasonda ne muweereza mu ggwanika lya Buganda mu mwaka 2025 zaatuuka bulungi ddala” Owek. Waggwa.

Minisita wa Gavumenti ez’ebitundu mu Buganda Owek. Joseph Kawuki ye yebaziza nnyo abakulu b’amasomero n’abazadde olw’okukkiriza abaana okukiikanga embuga n’okuwaayo oluwalo ky’agambye nti kino kyongera okussaawo essuubi mu lugendo lw’okuzza Buganda ku Ntikko, ono yebazizza n’abantu ba Kabaka bonna olw’okunyiikira oluwalo, era asabye Abaami ba Kabaka okwongera amaanyi mu nteekateeka eno. Ono ategeezeza nti okuyita mu ŋŋombo “Tondeka mu Luwalo” baagala okulaba nga tewali muntu asigalira mabega mu nteekateeka eno.

Omwami w’essaza Kyaddondo Kaggo Hajj Ahmed Magandaazi ku lw’Abaami b’Amasaza ategeezezza nti Oluwalo lujegere lwa maanyi olunyweza obukulembeze mu Buganda era oluyunga abakulembeze ku bantu. Ono yebazizza obukulembeze bwa Gavumenti ya Kabaka olw’okulabaluŋamya obulungi bbo ng’abakulembeze mu Gavumenti ez’ebitundu okulaba nti enteekateeka y’oluwalo eyongera okunnyikira. Yebazizza n’abakulembeze ku ggombolola, miruka n’ebyalo olw’obumalirivu n’obwerufu mu kutuukiriza obuvunaanyizibwa obubasuubirwamu mu nteekateeka eno eya Luwalo Lwaffe.

Ye Hajj Musa Ssemambo, omwami w’eggombolola Mut. III Makindye, ku lw’Abaami ab’eggombolola zonna ategeezezza nti Luwalo Lwaffe nkola ebayamba ng’abakulembeze mu Buganda okutuusa ku bantu obubaka n’enteekateeka z’Obwakabaka ez’enjawulo era ono ategeezezza nti oluwalo lubayamaba okukuuma embuga z’eggombolola nga ziri ku mutindo, nga ziyooyoteddwa era nga ziteekebwamu n’ebikozesebwa.

Nkola ya Luwalo Lwaffe 2026 esuubirwa okuggulwawo nga 24 Mukutulansanja.

Share this:

  • Tutukiriire

© 2021 Gambuuze - Obwakabaka bwa Buganda.

Welcome Back!

Login to your account below

Forgotten Password?

Retrieve your password

Please enter your username or email address to reset your password.

Log In

Add New Playlist

No Result
View All Result
  • Omuko Ogusooka
  • Agafa e Mengo
  • Emboozi
  • Endowooza
  • Ebisanyusa
  • Ag’Ebweru
  • Ebyemizzanyo

© 2021 Gambuuze - Obwakabaka bwa Buganda.