• Tutukiriire
Gambuuze
Advertisement
  • Omuko Ogusooka
    Owek. Mayiga akubirizza abakulira Abasomaali okwenyigira mu nteekateeka z’ Obwakabaka

    Owek. Mayiga akubirizza abakulira Abasomaali okwenyigira mu nteekateeka z’ Obwakabaka

    Minisita Anthony Wamala akubirizza abantu okuwandiika ebibakwatako okukuuma omukululo

    Minisita Anthony Wamala akubirizza abantu okuwandiika ebibakwatako okukuuma omukululo

    Owek. Mayanja akunze abantu okukuuma Obutondebwensi

    Owek. Mayanja akunze abantu okukuuma Obutondebwensi

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    Ab’e  Masaka balaajanye mu muwendo gwa baana ogweyongedde

    Ab’e  Masaka balaajanye mu muwendo gwa baana ogweyongedde

    Kaggo Magandaazi atuuzizza Abaami b’emiruka, Abasabye okukuuma  ekitiibwa kya Buganda

    Kaggo Magandaazi atuuzizza Abaami b’emiruka, Abasabye okukuuma  ekitiibwa kya Buganda

    Abantu ba Beene basabiddwa okutumbula obuyonjo nga bayita mu Bulungibwansi

    Abantu ba Beene basabiddwa okutumbula obuyonjo nga bayita mu Bulungibwansi

    Olukiiko olutegesi lulambudde ekifo awanaakwatirwa olunaku lw’Abavubuka mu Buganda

    Olukiiko olutegesi lulambudde ekifo awanaakwatirwa olunaku lw’Abavubuka mu Buganda

    Owek. Kakomo asabye abantu okunnyweza Obumu

    Owek. Kakomo asabye abantu okunnyweza Obumu

  • Agafa e Mengo
  • Emboozi
  • Endowooza
  • Ebisanyusa
  • Ag’Ebweru
  • Ebyemizzanyo
No Result
View All Result

Home Amawulire

Okuzzaawo ekitiibwa kya Buganda kwetaaga abantu abalina omwoyo gwa Buganda ogutafa – Katikkiro Mayiga

Gambuuze by Gambuuze
February 7, 2026
in Amawulire
0 0
0
Okuzzaawo ekitiibwa kya Buganda kwetaaga abantu abalina omwoyo gwa Buganda ogutafa – Katikkiro Mayiga
0
SHARES
0
VIEWS
Share on FacebookShare on Twitter

Bya Miiro Shafik

Lubaga – Kyaddondo

Katikkiro Charles Peter Mayiga asimbye amannyo ku nsonga y’omwoyo gwa Buganda ogutafa ng’agamba nti abantu abagulina be beetaagisa mu kuzzaawo ekitiibwa kya Buganda n’okuzza Buganda ku ntikko.

Bino abyogeredde mu Ekelezia Lutikko e Lubaga bw’abadde yetabye mu mmisa y’okugatta abagole Florence Naluyange ne Lubega Eddie Godfrey gw’agambye nti musajja wa Kabaka alina omwoyo gwa Buganda ogutafa.

“Musajja wa Kabaka ye muntu abeera n’omwoyo gwa Buganda ogutafa ate omwoyo gwa Buganda ogutafa y’embeera etujjuza essuubi ery’okukuuma ennono n’ekitiibwa kya Buganda. Ebbanga lyonna tubagamba tukomyewo ekitiibwa kyaffe, kino kyesigamizibwa ku bantu abeewaayo okukola ebintu ebitukuumira awamu, abakola ebitugasa, ebiyamba abalala okwesitula” Mayiga.

Katikkiro agamba nti Lubega musajja wa Kabaka alina omwoyo gwa Buganda era kino yakiraba bwe yagenda okulambula abantu ba Kabaka e Busujju mu kaweefube wa Emmwanyi Terimba, Lubega bwe yasalawo okumukyaza mu maka ge alye eky’emisana, n’asanga ng’akuŋŋanyiza abantu bangi ewuwe ate ng’alima emmwanyi mw’asinziira okuwa abantu abalala bangi emirimu. Kino kyamulaga nti ono alina omwoyo gwa Buganda gutafa era akimanyi bulungi nti okusitula ekitiibwa kya Buganda kirina kukolebwa kati.

“Twagala abantu abamanyi nti ekitiibwa kya Buganda tulina kukiraba kaakati, ssi mu mirembe egyayita era nze saagala muntu ajuliza ebyo ebyayita mbu emyaka 300 emabega Buganda yalina ekitiibwa, kituufu naye twagala kukiraba kaakati ffe abaliwo, ekitiibwa tetusobola kukiraba nga tetuliiwo, twetaaga abantu abeewaayo okulaba nti ekitiibwa kya Buganda kiddawo” Owek. Mayiga.

Kamalabyonna ategeezezza nti ekitiibwa kya Buganda kirina kulabikira mu bantu ba bulijjo, nga bakola emirimu egivaamu ensimbi nga okulima emmwanyi, nga balina webasula nga wayonjo, nga basomesa abaana, nga balina obusobozi okwetuusaako obujjanjabi, nti atasobola bino era tayinza kuyimba kitiibwa kya Buganda ekyava edda ng’ategeeza amakulu gaakyo, bw’atyo yebazizza Lubega olw’okubeera omumaliririvu mu kuzzaawo ekitiibwa kya Buganda.

“Obufumbo nabwo buzzaawo ekitiibwa kya Buganda anti era Omuganda agamba nti omuwuulu teyesigika, mu bufumbo mwe muva abaana abanaakuuma ekitiibwa kya Buganda be bayita eggye lya Kabaka eritaggwa mabega, bwe tuba nga tetulina maka, tunaafuna tutya omusingi omutuufu, kiba kizibu” Katikkiro Mayiga bwatyo yebazizza abagole bano olw’okusalawo okunyweza obufumbo era n’asaba n’okukuza obulungi abaana nga bategeera obuvo bwabwe.

Rev. Fr. Nicholas Mulumba akulembeddemu mmisa y’okugatta abagole Godfrey ne Florence asabye ababiri bano okukimanya nti okubagatta embaga ssi kufuna bitiibwa wabula kitegeeza buli omu okuwaayo obulamu bwe eri munne ekitegeeza nti balina okunyweza omukwano wakati waabwe ng’akikaatiriza nti okwagala kitegeeza kuwuliziganya, kusonyiwagana, kulumirirwa, kwagaliza kwewaayo.

Fr. Mulumba agamba nti embaga ya lunaku lumu, kyokka obufumbo bwa lubeerera, bw’atyo n’akubiriza ababiri bano okwetegekera obulamu obusukka ku mbaga, ategeezeza nti ekinaabayamba okuwangaala mu bulamu buno kwe kwekwata Katonda ablungamye mu lugendo lw’obufumbo.

Wano alabudde abawangaala n’abafumbo okumanya we bakoma mu bufumbo bwa bannaabwe ono akikaatiriza nti “ebikola mu bufumbo bw’omu ate ssi bye bikola mu bw’omulala, era awadde eky’okulabirako nti waliwo gy’osanga nga okufukamira mpisa ya mu Maka ate ewalala nga tekikola, kale nti abafumbo balina okuweebwa omukisa okutambuza amaka gaabwe mu mbeera ebawa emirembe.

Fr. Mulumba avumiridde abantu abakuliriza enjogera ya ‘single parent” mbu nga tebaagala bufumbo wabula okukuza abaana bokka na bokka, abasekeredde nti ekyo kye bagonza nti ‘single mother” kitegeeza nnakyeyombekedde ky’agambye nti ssi kirungi n’akatono. Annyonnyodde nti obufumbo bukolebwa Taata na maama era okubeera awamu ky’ekisinga obulungi eri abaana.

Abagole bano oluvudde e Lubaga abagenyi baabwe babasemberesezza Busujju.

Share this:

  • Tutukiriire

© 2021 Gambuuze - Obwakabaka bwa Buganda.

Welcome Back!

Login to your account below

Forgotten Password?

Retrieve your password

Please enter your username or email address to reset your password.

Log In

Add New Playlist

No Result
View All Result
  • Omuko Ogusooka
  • Agafa e Mengo
  • Emboozi
  • Endowooza
  • Ebisanyusa
  • Ag’Ebweru
  • Ebyemizzanyo

© 2021 Gambuuze - Obwakabaka bwa Buganda.