Bya Miiro Shafik
Kasawo – Kyaggwe
Ssaabalangira Godfrey Musanje Kikulwe Ngobe omubuze, aterekeddwa ku kyalo Kitegula e Kasawo mu Kyaggwe, ono yaseereredde ku myaka 71 oluvannyuma lw’okutawanyizibwa obulwadde mu mawugwe.

Katikkiro Charles Peter Mayiga abadde omukungubazi omukulu e Kasawo asinzidde eno n’ategeeza nti Ssaabasajja amutumye okutegeeza Aboolulyo Olulangira n’Obuganda bwonna nti abadde omumyuka wa Ssaabalangira Musanje, Omulangira Fred Ssande Kateregga ajja kusigala ng’aluŋŋamya Olulyo Olulangira okutuusa Beene lw’anaalonda Ssaabalangira omuggya.

“Omulangira Kikulwe Ssaabalangira nga bw’aseeredde, Ssaabasajja Kabaka ajja kutuwa Ssaabalangira omuggya gw’anaakwasa omuggo Ssegulirennume, naye mu kiseera kino Olulyo luluŋŋamizibwa Omulangira Fred Ssande Kateregga abadde omumyuka we okutuuka Ssaabasajja lw’abatuwa Ssaabalangira omuggya era ekyo andagidde nkibategeeze nga nzijja wano, mu Buganda tewali bya kirwanire, tewali bya kwesooka tulinda bulinzi Kabaka ayise ekirangiriro” Katikkiro Mayiga.
Kamalabyonna wa Buganda Mayiga annyonnyodde nti enteereeza ya Buganda eriwo kati, yatandikira ku Kabaka Kintu, awo we wava amasiga asatu (3) Buganda kwetudde; Olulyo Olulangira omuva Omulangira afuga Obuganda, essiga ery’abazzukuku bonna omuva Abaami abakulirwa Katikkiro n’essiga ery’Abataka, Abaganda bonna mwe beeyungira ku Kabaka Ssaabataka. Agamba nti Kintu nga tanajja, mu Buganda buli mukulu wa Kika ng’alinga Kabaka okutuuka olukiiko olwatuula ennono lwe lwavaamu entereeza eno ey’amasiga 3. Agamba nti wano Kabaka wajja obuyinza obulonda Ssaabalangira.
“Kabaka ye yandibadde Ssaabalangira, naye olw’okuba abeera afunye obuvunaanyizibwa okukulembera Obuganda bwonna, ky’ava alonda Ssaabalangira okumuluŋamizaako olulyo olulangira” Mayiga.Owek.
Mayiga ayogedde ku Ssaabalangira Musanje ng’omuntu abadde omukwatampola, atasitula ddoboozi lye, nga yebuuza nnyo ate ng’awuliriza nga mwetowaze nnyo eyewala okupapira ensonga. Ategeezezza nti abantu bangi bwe baweebwa ebifo balowooza nti ekitiibwa kiva mu kifo ekibaweereddwa, agamba kino ssi kituufu, ekitiibwa kiva ku ngeri omuntu gy’akola obuvunaanyizibwa obugendera ku kifo ekyo.
“Ssaabalangira Musanje abadde musajja wa kitiibwa era tumusaaliddwa nnyo, abadde aweereza bulungi Ssaabasajja Kabaka n’Obuganda era afubye nnyo okukumaakuma Aboolulyo, Ab’emituba yabaleetako ne mu Butikkiro ne tunyumya emboozi n’egwa amakerenda, nange nkolaganye naye bulungi nnyo, ate n’omulimu ogw’obusawo yagukola bulungi nnyo” Mayiga atenderezza omubuze.

Katikkiro asaasidde Abooluganda lw’Omubuze n’emikwano gyonna n’akubiriza abaana okutwala mu maaso empisa ennungi Ssaabalangira ze yabasigamu. Yebazizza abakwatidde ku mubuze okutuukiriza obuvunaanyizibwa bwe emyaka 11 gy’aweerezza nga Ssaabalangira wamu n’abo abaamujjanjabye ebbanga ly’alwalidde.
Omukolo gw’okuwerekera Ssaabalangira Musanje gukulumuludde abantu bayitirivu ddala; Abalangira n’Abambejja, Bannaalinnya, Abaami ba Kabaka ku mitendera egy’enjawulo, Bannaddiini abakulembeze mu Gavumenti ya wakati n’emikwano mingi ddala.









