Bya Mugwanya George William
Busimbi-Ssingo
Ab’e Ssingo omwaka bagutandikidde mu maanyi oluvannyuma lw’okwefunira ebyuma ebinaabasobozesa okukeberebwa endwadde z’amaaso ezitali zimu olwo ate bafune obujjanjabi bw’amaaso mu ddwaliro eryazimbibwa Ssaabasajja e Busimbi ng’aluubirira okutuusa ebyobulamu ebyomutindo ku bantu be.

Wasswa Isaac okuva ku ddwaliro ly’e Mmengo y’akwasizza Mukwenda n’obukulembeze bw’eddwaaliro ebyuma ebikebera amaaso n’ategeeza nti bijja kukebera obulwadde bw’amaaso obwengeri zonna era wassiddwawo abasawo ab’enkkalakkalira okuwa obujjanjabi buno. Ono era akubirizza abantu bonna okujjumbira okwekebeza amaaso kubanga abantu bangi batambula n’obulwadde naddala abo abawezezza emyaka 40 n’okudda waggulu.
Mukwenda Deo Kagimu ayanirizza obujjanjabi buno e Ssingo n’annyonnyola nti bwa kuyamba okukendeeza ku ŋŋendo abantu ze babadde batindigga okugenda ku ddwaliro ly’e Mmengo mu Kampala ate n’okukendeeza ensaasanya yaabwe.
Mukwenda alaze nti eddwaaliro terigenda kukoma ku kujjanjaba bannassingo bokka wabula n’abantu b’amasaza agalinanyewo naddala Busujju, Ggomba, Butambala ne Buweekula era akoowodde abantu ba Kabaka okweyuna eddwaliro bafune obujjanjabi.

Okusinziira ku minisitule y’ebyobulamu mu ggwanga abantu abali eyo mu mitwalo ana (400,000) bazibe ba maaso so ate abali eyo mu kakade (1,000,000+) batoba n’endwadde z’amaaso ezitali zimu kale nga ebyuma bino wakiri byandikyusa ku bibalo ebyo omwaka guno naddala singa abantu bafaayo okwekebeza n’okwejjanjabisa.









