Bya Saava Kevins Kanyike
Wakiso – Busiro
Abantu ba Ssaabasajja Kabaka abawangaalirira mu ssaza Busiro bajjanjabiddwa mu lusisira lw’ebyobulamu olutegekeddwa Obwakabaka wansi wa minisitule y’enkulaakulana y’abantu n’eddwaaliro lya St Joseph’s hospital e Wakiso nga bano bayambiddwako wamu n’okuvujjirirwa abasawo okuva e Cananda.

Mu lusiisira luno, essira liteereddwa ku kulongoosa abantu abalina obulwadde bwa nakimu, okujjanjaba endwadde z’olukonvuba wamu n’enkovu ezimera ku mubiri.
Minisita w’Ebyobulamu mu Buganda Owek. Choltilda Nakate Kikomeko asinzidde n’akubiriza abantu ba Kabaka obuteesibaako ndwadde banyiikire okugenda okwejjanjabisa.
“Abantu kati ebyobulamu babitwala nga bikulu naye waliwo abeesibako endwadde, nti ekyo kirwadde kyange kanjira mbeera nakyo kwegamba ne bemanyiza endwadde, njagala okubasaba okwemayiza okusituka mugende mulabe abasawo abakugu kati nga abali wano” Minisita Nakate bw’asabye.

Minisita Nakate asiimye Dr. Nicholas Mugagga okuvaayo n’adduukirira abantu ba Buganda naddala mu byobulamu, agamba kino kigatta ku kaweefube Obwakabaka gwe buliko okulaba nti bulwanyisa endwadde ezisinga okusumbuwa babnayuganda.
Dr. Nicholas Mugagga nga y’akulira ebyobulamu mu ssaza Busiro nga ye mutandiisi w’eddwaliro St. Joseph’s Hospital e Wakiso, akubirizza abazadde okufaayo okulaba abasawo nga bali mbuto okukendeeza ku muwendo gw’abaana abazaalibwa nga bannakimu, ono annyonnyodde nti abakyala basanye okwegendereza ennyo nga bakafuna embuto kuba abaana we basingira okufunira obuzibu kika ekyo.

Kimit Rai eyakulembeddemu ttiimu eyavudde e Canada alaze nti obujjanjabi buno babugabye okulaba nga abantu abatalina busobozi bwa kufuna ssente kujjanjabwa nabo bayambibwa, ono agamba nti olw’enkolagana ennungi gye basanze mu Uganda naddala mu malwaliro n’abantu be bakolaganye nabo bagenda kwongera okukuperereza abakugu abalala okuleeta obujjanjjabi bw’endwadde ez’enjawulo eri Bannayuganda.









