Bya Miiro Shafik
Lubaga – Kyaddondo
Ssaabalangira Omubuze Godfrey Musanje Kikulwe Ngobe eyaseerera ku Lwokubiri nga 3 Mukutulansanja, 2026 asomeddwa mmisa y’okusabira omwoyo gwe mu Lutikko e Lubaga, ekulembeddwamu Rev. Fr. Emmanuel Ssebayigga Omumyuka wa Ccansala w’essaza ekkulu erya Kampala.

Fr. Ssebayigga asiimye Ssaabalangira Musanje olw’omutima ogw’okulumirirwa abalala, n’obukulembeze bw’awadde eri Olulyo Olulangira. Agamba nti ono abadde n’ebigambo ebirungi ebiyigiriza era ebikuumaakuma abalala ebyandisaanye n’okukubwamu ekitabo.
“Ssaabalangira Musanje atwesooseeyo bwesoosi naye naffe gy’alaze gye tulaga, tulina kumuyigirako ebirungi by’akoze naffe twetegekere okugenda kwaffe nga tujjukira nti waliyo essuubi ery’okuzuukira kale tuleme kuggwamu maanyi twongere okwebaza Katonda olw’obulamu bw’awadde omubuze, naye tumuwe essaala anti atamanyi mpewo y’emagombe y’amma omufu olubugo oba essaala” Fr. Emmanuel. Asabye Abakristu okwongera okunywerera ku Kristo baleme okuzikirira emirembe gyonna.
Ku lwa Gavumenti ya Kabaka, Omumyuka Asooka owa Katikkiro, Owek. Twaha Kaawaase Kigongo atuusizza okusaasira kwa Gavumenti ya Beene eri Olulyo Olulangira n’Obuganda bwonna olw’okuseerera kwa Ssaabalangira. Ono agamba nti mu masiga asatu Buganda kwetudde, Olulyo Olulangira lwa nkizo nnyo kubanga mwe muva Kabaka akulembera Obuganda kale bwe luvaamu omuntu yenna kuba kusoomoozebwa kwa maanyi nnyo.
“Twebaza Ssaabalangira Musanje olw’emirimu gy’akoze, ng’omusawo, omukulembeze ate abadde Ssaabalangira emyaka 14 be ddu, tukolaganye bulungi nnyo naye ebbanga lyonna”, Owek. Kaawaase, omubuze amwogeddeko ng’omuntu abadde omwetowaze, omuntumulamu, omuwabuzi, era ayagala abantu, ategeezezza nti ono ajja kusubwa nnyo, olw’ebyo by’abadde akola eri Olulyo Olulangira n’Obuganda bwonna okutwaliza awamu asabye Katonda abeere wa kisa ng’alamula omuddu we ono.

Omumyuka wa Ssaabalangira, Omulangira Kateregga Fred Ssande, agamba nti ono akoze emirimu gye bulungi era n’akola emikwano, agamba nti bajja kusigala nga bamujjukira nnyo. Yebazizza bonna abaliko kye bakoze okulaba nti omubuze awerekerwa mu kitiibwa.
Ku lw’Abooluganda lw’Omubuze, Omulangira Golooba Martin ng’ono mutabani wa mubuze, yeyanzizza nnyo Ssaabasajja Kabaka olw’okusiima n’awa Kitaabwe ekitiibwa kya Ssaabalangira okumuluŋamizaako olulyo olulangira, yebazizza buli muntu aliko ky’akoze mu bulamu bwa Kitaabwe n’abo baabadde awangaala nabo ebbanga lyonna.
Ono asabye abantu okwongera okubasabira bongere okukwatagana ng’abooluganga nga Kitaabwe bw’abalese. Ategeezezza nti Kitaabwe, abatendese empisa, abaagadde abasomesezza era abategese bulungi ng’abaana wamu n’abooluganda lwe bonna.
Owek. Joyce Nabbosa Ssebugwawo ku lwa Gavumenti eya wakati, ategeezezza nti okuseerera kwa Ssaabalangira kwazze mu ngeri ya kyenkango nnyo, n’addala eri abo abamubadde ku lusegere. Ategeeza nti ono ayagadde nnyo Olulyo Olulangira era ng’alumwa nnyo embeera ekigango ky’Abalangira mwe kiri ng’ayagala nnyo kizimbibwe. Ategeezezza nti kinakuwaza okuba nti ono agenze tasobodde kulaba ku kuyaayaana lwe nga kutuukirira. Ono asabye abasigaddewo okukola ekyetaagisa okulaba nti omulimu guno gukolebwa.

Nabbosa ayogedde ku Ssaabalangira ng’omuntu abadde omwetowaze, omuwulize, omuteesa omulungi era agamba nti ono akulembedde bulungi nnyo Olulyo Olulangira. Agamba nti wabaawo okulumwa nga Katonda atutte abakola obulungi ku Nsi, kyokka ekikulu be bantu okusaba Omutonzi b’atutte abaanirize na kisa. Ono asaasidde nnyo Ssaabasajja olw’okuviibwako omukulembeze omulungi nga Ssaabalangira bw’abadde.
Mmisa eno yetabiddwamu; Bannaalinnya, Abalangira n’Abambejja, Abaami ba Kabaka ku mitendera eby’enjawulo n’abakungubazi abalala bangi.
Omubiri gw’Omubuze gutwaliddwa e Kasawo gy’anaaterekebwa enkya ku Lwokuna 5 Mukutulansanja 2026.
Gutusinze nnyo Ayi Ssaabasajja Kabaka, Twakuumye bubi.









