Bya Saava Kevins Kanyike
Bwezza-Busujju
Abazira Ŋŋonge bakubiriziddwa okuwaggiraŋŋana mu mirimu nga buli omu ensimbi aziwa muzira Ŋŋonge munne alina ky’akola olwo lwe banaasobola okwekulaakulanyiza nga awamu ng’abazzukulu ne ekika.

Obubaka buno Omutaka Kisolo owa 36, abuwadde bazzukulu be bw’abadde ku mukolo gw’okulamaga ku butaka bw’Ekika e Bwezza Busujju.Omutaka Kisolo akubirizza bazzukulu be okuwaggiraŋŋana nga buli omu anoonya bizinensi z’Abenŋŋonge basobole okwegya mu lumbe lwo bwavu.
“Abantu bangi be mumanyi nga ba Ŋŋonge abali mu nsi y’emirimu kale twandibadde tubawagira n’etwesitula nga Abagonge ate n’etusobola okugyayo kye nandiyise omusolo” Omutaka Kisolo bwategezeza.
Ye Omukubiriza w’Olukiiko lw’Abataka, Omutaka Namwama Augustine Kizito Mutumba obubaka bwe ku mukolo guno abutisse omukulu w’ekika kya Kayozi Omutaka Kafumu Kizito Batuuka nga essiira alitadde mu kulonda okubindabinda era wano asabye abazira Ŋŋonge okulonda abakulembenze be baagala kyokka nga bawulize eri Nnamulondo.
Omuwabuzi ow’enjawulo mu kika ky’e Ŋŋonge Owek. Canon Dr. Gaster Lule Ntake asabye abazadde okusooka okwekenneenya abaana nga tebannabagabira bintu omuli ettaka, kubanga ab’omulembe guno batunda ttunde.

Mu ngeri y’emu Oweek Ntake ayanjulidde bazzukulu ba Kisolo enteekateeka ey’okuzimba ekizimbe gaggadde ku ttaka ly’Ekika erisangibwa e Lubaga nga kino kya kubeerako offiisi z’ekika ssaako amaduuka agapangisibwa ekika kisobole okufuna ejjamba.
Ebika byonna mu Buganda buli mwaka bitegekera abazzukulu ne balamaga ku butaka bwe kika okwongera okumanyagana nga abazzukulu n’okumanya ebifa mu kika kyabwe.









