• Tutukiriire
Gambuuze
Advertisement
  • Omuko Ogusooka
    Owek. Mayiga akubirizza abakulira Abasomaali okwenyigira mu nteekateeka z’ Obwakabaka

    Owek. Mayiga akubirizza abakulira Abasomaali okwenyigira mu nteekateeka z’ Obwakabaka

    Minisita Anthony Wamala akubirizza abantu okuwandiika ebibakwatako okukuuma omukululo

    Minisita Anthony Wamala akubirizza abantu okuwandiika ebibakwatako okukuuma omukululo

    Owek. Mayanja akunze abantu okukuuma Obutondebwensi

    Owek. Mayanja akunze abantu okukuuma Obutondebwensi

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    Ab’e  Masaka balaajanye mu muwendo gwa baana ogweyongedde

    Ab’e  Masaka balaajanye mu muwendo gwa baana ogweyongedde

    Kaggo Magandaazi atuuzizza Abaami b’emiruka, Abasabye okukuuma  ekitiibwa kya Buganda

    Kaggo Magandaazi atuuzizza Abaami b’emiruka, Abasabye okukuuma  ekitiibwa kya Buganda

    Abantu ba Beene basabiddwa okutumbula obuyonjo nga bayita mu Bulungibwansi

    Abantu ba Beene basabiddwa okutumbula obuyonjo nga bayita mu Bulungibwansi

    Olukiiko olutegesi lulambudde ekifo awanaakwatirwa olunaku lw’Abavubuka mu Buganda

    Olukiiko olutegesi lulambudde ekifo awanaakwatirwa olunaku lw’Abavubuka mu Buganda

    Owek. Kakomo asabye abantu okunnyweza Obumu

    Owek. Kakomo asabye abantu okunnyweza Obumu

  • Agafa e Mengo
  • Emboozi
  • Endowooza
  • Ebisanyusa
  • Ag’Ebweru
  • Ebyemizzanyo
No Result
View All Result

Home Amawulire

Katikkiro Mayiga alabudde ku nneeyisa y’Abakuumaddembe

Gambuuze by Gambuuze
January 3, 2026
in Amawulire
0 0
0
Katikkiro Mayiga alabudde ku nneeyisa y’Abakuumaddembe
0
SHARES
91
VIEWS
Share on FacebookShare on Twitter

Bya Miiro Shafik

Mmengo – Bulange

Katikkiro Charles Peter Mayiga akyazizza abasirikale abakuuma mu Bwakabaka (Kabaka Protection Unit – KPU) mu maka amatongole Butikkiro okubeebaza emirimu gye bakolera Obwakabaka.

“Obusirikale mulimu muzito nnyo okwawukanako n’emirimu mingi, gulimu okusoomooza okungi omuli okusula mu mpewo, okukubwa enkuba, enfuufu, ekiwubaalo n’ebirala, kale kyenva mbeebaza okukuuma Kabaka naffe ffenna era netutafuna buzibu bwonna” Katikkiro Mayiga.

Kamalabyonna agamba nti abantu bangi baayogerera nnyo abasirikale b’Obwakabaka nti basindikiriza abantu, nti tebalina kukuuma Kabaka alina kubeera na bambowa bokka n’ebirala, kyokka asinzidde wano ne yebaza abakuumaddembe mu Bwakabaka olw’obutava ku mulamwa era wano n’ayongera okubakubiriza okweyisa obulungi n’alabula abasirikale bonna ku nneeyisa yaabwe.

“Enneeyisa y’omusirikale y’ereetera abantu okumwesiga, omusirikale alina empisa emirundi mingi yakuzibwa ku mirimu, kirungi omusirikale okubeera omuyonjo, ng’ayogera bulungi eri abantu, ng’akola dduyiro ate nga mukakkamu, obukakkamu bw’omusirikale ky’ekitiibwa kye” Katikkiro Mayiga.

Owoomumbuga ku nsonga y’abantu abayogerera ennyo ensonga ya Kabaka okukuumwa amaggye ategeezezza nti Ensi etambula n’enkyukakyuka, kale nga ku mulembe nga emmundu y’ekozesebwa buli wamu, kyali kisaanidde ku bambowa abakuuma Kabaka okugattako amaggye ku lw’ebyokwerinda ebirungi.

“Abantu ab’amaanyi mu Nsi yonna bakuumibwa mmundu, abambowa kuva dda nga bakwata busaale na mafumu, mu kiseera nga waliwo obulumbaganyi obulabiddwako obw’emmundu mu Nsi, kisaanidde n’obukuumi bwa Kabaka okunywezebwa, kale abo abaali boogera bino na biri baali tebasoose kulowooza” Mayiga. Ono yebazizza aba UPDF okuwa Obwakabaka obukuumi.

Minisita avunanyizibwa ku byokwerinda mu Bwakabaka, Owek. Anthony Wamala asinzidde wano n’asaba abali mu byokwerinda okukulemberamu okulwanyisa obutabanguko mu ggwanga ng’agamba nti buvunanyizibwa bwa buli muntu okulanirira eddembe mu Nsi, kyokka abakuumaddembe bwe bakulemberamu, kiba kya nkizo kubang mirundi mingi be bakozesebwa okukakkanya bino kati nga kirungi byewalibwe okusinga okukakkanyizibwa.

Ye Akulira ebyokwerinda by’abakulembeze ab’ennono mu Uganda yonna, Col. Edward Herbert Tahunga yebazizza Katikkiro olw’enkola eno ey’okwebaza Abasirikale, era bbo n’abasaba okukola obulungi emirimu gy’Obwakabaka mu ngeri eyeetaagisa. Ono asabye Katikkiro okwongera okulungamya abasirikale bano mu mbeera zonna.

Capt. Christopher Lutwama ono y’akulira abasirikale mu Bwakabaka asiimye nnyo Katikkiro olw’okubategekera akabaga akabasiima, era n’akalaatira banne okwongera okuweereza mu bwesimbu. Abajjukiza n’okufuba okwekulaakulanya naddala nga beetegekera ebiseera nga bawummudde amaggye.

Akabaga kano ketabiddwako abasirikale b’Obwakabaka n’abantu baabwe; bakyala baabwe, abaami n’abaana. Bagabuddwa ekijjulo ne babibyamu ne ku mazina.

Share this:

  • Tutukiriire

© 2021 Gambuuze - Obwakabaka bwa Buganda.

Welcome Back!

Login to your account below

Forgotten Password?

Retrieve your password

Please enter your username or email address to reset your password.

Log In

Add New Playlist

No Result
View All Result
  • Omuko Ogusooka
  • Agafa e Mengo
  • Emboozi
  • Endowooza
  • Ebisanyusa
  • Ag’Ebweru
  • Ebyemizzanyo

© 2021 Gambuuze - Obwakabaka bwa Buganda.