Bya Maria Gorreth Namisagga
Mmengo – Kyaddondo
Katikkiro asabye bannakibiina Kya Democratic Party okutambulira ku mulamwa ogw’amazima n’obwenkanya.Bannakibiina
Bannakibiina ki Democratic party bakiise embuga nga bakulembeddwamu abakwatidde bendera ku bwa Loodi mmeeya Beatrice Mao ne pulezidenti w’ekibiina kino Nobert Mao, era basisinkanye Katikkiro wa Buganda Charles Peter Mayiga mu Bulange e Mengo.

Kamalabyonna wa Buganda munnamateeka Charles Peter Mayiga, mu kwogerako eri bano abasabye okutambula n’omulamwa gwabwe ogugamba nti ‘Amazima n’Obwenkanya’ ng’agamba nti bino bisobolera ddala okutebenkeza Uganda nga guleetawo obumu mu bantu bonna mu ggwanga lino.
“Omulamwa gwa DP, Amazima n’Obwenkanya mugunywerereko nga munoonya akalulu ne bwemuba nga muwangudde, kubanga gusobola okutebenkeza Uganda nga gutuletera obumu n’enkulaakulana, nze sseeraliikirira bannayuganda kubeera bumu, kasita wabeerawo Amazima n’obwenkanya, kubanga Bannayuganda bbo baagalana” Katikkiro Mayiga.
Oweek. Charles Peter Mayiga bano abategeezeezza nti bwe banaaba baagala okudda mu kifo kyabwe kye balimu mu kusooka, balina kusooka kusoosowaza nsonga za Buganda. Agamba nti DP ekibiina kyava dda era ky’ekibiina ekyasooka okuwaayo obuyinza mu mirembe, Ben Kiwanuka bwe yawaayo obwa Ssaabaminisita mu mirembe.
Kamalabyonna bwatyo ayongedde okusaba bannayuganda okwenyigira mu bakulembeze, kyokka balonde abo abakulembeze abalimu ensa.

Akulembeddemu banna-Dp, Beatrice Nambi Mao, agambye nti ekimuwalirizza okwesimbawo ku kifo , kwe kuba nti ekibuga kyetaaga omuntu anaasobola okwogera ne Gavumenti ku by’eteekeddwa okukolera bannakibuga, omwerufu mu by’akola era ategeera n’enkozesa ya tekinologiya. Ono agamba nti mwetegefu okukolagana n’Obwakabaka okulaba nti ekibuga Kampala kikulaakulana.
Ye Pulezidenti w’ekibiina ki DP Nobert Mao asinzidde wano okwebaza Obwakabaka olw’okwaniriza abantu bonna, ne yebaza ne Katikkiro Mayiga olw’okukwata omumuli oguleese enkulaakulana mu Buganda ne Uganda okutwaliza awamu.
Katikkiro mu nsisinkano eno abadde ne Baminisita; Owekitiibwa Israel Kazibwe Kitooke ne Owekitiibwa Noah Kiyimba, ate Beatrice Mao aweerekeddwaako bba Nobert Mao ne bannakibiina abalala bangiBano bawagidde n’emirimu gy’Obwakabaka n’akakadde kamu n’ekitundu (1,500,000).









