Bya Pauline Nannyonjo
Ekisaakaate kya Nnaabagereka ekigendererwamu okutendeka abaana ba Buganda kizze kitambuzibwa n’ekigendererwa ky’okutuuka ku buli mwana wa Buganda gyali, bonna basobole okubangulwa mu mpisa ez’obuntubulamu.
Mu kuggalawo ekisaakaate ekiyindidde mu ssaza Buddu, Nnaabagereka Sylivia Naginda asabye amasomero gonna wakiri bafube basomese abaana ba Buganda ebimu kw’ebyo ebisomesebwa mu kisaakate olwo beyongereko omuwendo ku bulamu bwabwe.

“Singa amasomero gonna gasobolala okutekaawo pulogulaamu z’ekisaakate ne kibeera nti okuyita mu lusoma oba omwaka ne babanga ebintu bino babidiringana nga tetukikola bukozi mu wiiki emu oba bbiri ng’abaana bazze mu kisaakate” Maama Nnaabagereka bwasabye.
Nnaabagereka era anokoddeyo ebimu ku by’enkizo ebisomeseddwa abasaakaate okuli okusoma ebyemikono, enkwata y’obulamu, enkwata n’enkozesa ya ssente, obuyonjo, endya ennungi, ebyemizanyo n’ebirala.
Nnaabagereka era ajjukiza abazadde bonna mu ggwanga okutwala abayizi mu kisaakaate ky’omwaka ogujja nga okulonda tekunabaawo mu Gatonnya wa 2026 ekigenda okutambulira wansi w’omulamwa ‘Tekinologiya n’obuwangwa’. Nnaabagereka anyonnyodde nti tekinologiya yajja era takyasobola kwawulibwa na bulamu bw’abaana, kale kisaanidde babangulwe ku nkwataganya y’ensonga ezo zombi; obuwangwa ne tekinologiya.
Minisita Noah Kiyimba akiikiridde Minisita Choltilda Nakate Kikomeko avunanyizibwa ku woofiisi ya Nnaabagereka, asinzidde eno n’akunga abazadde obutazikiza mumuli gwa mpisa gukimidwa mu basaakaate abatendekeddwa e Buddu.
“Abazadde nsaba mutwale mu maaso abasomesa bye basomeseza abaana bano, tubalabye kati basobola okwogera obulungi mu bantu n’ebintu ebirala byonna bye bayize kale abazadde kikulu nnyo musomese abaana ebibakwatako nga ebika byabwe kuba leero mutegedde we munaatandikira, Maama wakomeza omulimu gw’okubasomesa naffe twongere mu maaso” Minisita Kiyimba bwategezezza.

Oweek. Kiyimba era asabye abazadde okwongera ku kadde ke bawa abaana baabwe kibayambe okutebuka bannakigwanyizi abeyongedde n’ebigendererwa ebitali birungi, akalowoozo k’awadde abazadde kwe kwewala emitawaana egiyinza okuva mw’ebyo byonna kwe kubawa eby’okukola mu luwumula luno olwo bafune n’ebyokuyiga.
Omwami w’Essaza Buddu, Pookino Jude Muleke yebazizza Nnaabagereka olw’okutandikawo enkola ey’okutambuza Ekisaakaate mu Masaza, ng’agamba nti enkola eno egenda kuyamba nnyo abaana bonna okugabana ku biruubirirwa by’Ekisaakaate. Yebazizza abazadde abawaddeyo abaana baabwe okutendekebwa era n’asaba abo abatasobodde omwaka guno nabo okwetekateeka obulungi omwaka ogujja.
Omwaka guno ekisaakaate kya Nnaabagereka kitambulidde mu miteeko egy’enjawulo okuli ekya Gatonya ekikungaanya abaana bonna mu ggwanga, eky’amasomero agali ku mutendera gwe nsi yonna, ekisaakaate Diaspora wamu n’ekyamasaza ga Buganda.









