Bya Pauline Nannyonjo
Mmengo-Kyaddondo.
Abakulembeze b’ekkanisa ya Baptist Church in Central Africa nga balina ekitebe mu Uganda e Katwe bakyaddeko e Mmengo okumanyisa Embuga emirimu gye bakola wamu n’okwagala okufuna okuwabulwa okwenjawulo ku nsonga ezitali zimu okuva mu Bwakabaka mwe basinzira okuweereza abantu ba Mukama nga bano ebigambo byabwe babiganyeko n’Omukubiriza w’Olukiiko lwa Buganda ku Bulange.

Akulira ekkanisa ya Baptist Church mu nsi yonna Rev. Dr Jonathan Kavusa Kivatsi alombozze egimu ku mirimu gye bakola mu mawanga 8 mwe basiisidde nga ne wano mu Uganda bukya bajja mu 2016 e Katwe baweereza bantu ba Mukama kyokka nga alaze nti bayaayana nnyo okukolagana obutereevu n’Obwakabaka nga bazimba amasomero n’amalwaliro kuba balaba Obwakabaka nabwo busimbye awo amakanda.
Ono alaze nti ekkanisa gy’akulembera efuddeyo nnyo okusabira embeera eyakazigizigi ey’ebyokulonda ebibindabinda nga baagala Katonda asobozese eggwanga okusigala nga tebenkevu.
Rev. Kavusa mu ngeri y’emu asabye Obwakabaka okubalungamya ku nsonga z’ettaka nga balafubanira okugunjaawo emirimu egy’enkulakulana naddala mu bitundu bya Buganda omuli abantu abangi be basumba wadde nga ba mawanga ga njawulo.
Omukubiriza w’Olukiiko lwa Buganda, Owek. Patrick Luwaga Mugumbule asanyukidde emirimu gy’okulyowa emyoyo bano gye bakola wamu neteekateeka ze balina okubbulula abantu mu mbeera z’obulamu bwabwe.
Owek. Mugumbule abasabye okukolagana n’ebitongole n’Obwakabaka byonna nga tebetiiriridde kuba Ssaabasajja yabiteekawo kuweereza bantu be; “Nsaba mukolagane n’ekitongole kya Ssaabasajja Kabaka ekya Buganda Land Board bwe muba mwagala okufuna ettaka kuba bajja kubanguyiza ensonga mu makubo gonna ge munaakwata ag’ebyettaka”.









