Bya Maria Gorreth Namisagga
Mmengo – Kyaddondo
Katikkiro Charles Peter Mayiga asisinkanye ab’ekitongole ky’obwannakyewa ekikola ku nsonga z’amazzi n’okutumbula ‘ebyobuyonjo, ki Uganda Water and Sanitation Network (UWASNET), abasabye okukola omukago omutongole n’Obwakabaka okutumbula obuyonjo.

Aba UWASNET, okukiika embuga bazze okwanjula enkolagana gye balina n’ebitongole by’Obwakabaka okuli ekya BBS Terefayina, ne Rexba, era bazze n’okwanja enteekateeka ya kaweefube w’okubunyisa amazzi amayonjo n’okutumbula ebyobulamu mu butale bw’Obwakabaka nga batandikira mu butale okuli ak’e Kibuye ne Nakulabye.
Kamalabyonna wa Buganda Charles Peter Mayiga mu nsisinkano eno asoose kulaga obukulu bw’okubeera n’amazzi amayonjo, era bwatyo yebazizzaaba UWASNET, olw’okuvaayo n’enteekateeka eno ennungi gy’agambye nti esobolera ddala okuyambako okutumbula obuyonjo mu bantu ba Buganda, naddala abakolera mu butale.Bano abasabye okuggulawo omukago omutongole n’Obwakabaka, bwebaba nga baagala ekitongole kyabwe okwongera okufuna embavu mu bye kikola byonna.
“Wadde mulina enkolagana ne REXBA ne BBS, naye okwo mugatteko omukago n’Obwakabaka bwe muba mwagala UWASNET ,efunire ddala embavu, mwetaaga omukago omutongole, n’Obwakabaka, kubanga wano twatandika dda ku kutumbula Bulungibwansi n’Obutondebwensi,” Katikkiro Mayiga.

“Amazzi ky’ekyobugagga ekisinga okuba eky’omuwendo Katonda kye yatuwa, ate obuyonjo gwe musingi gw’obulamu obulungi n’okuwangaala, amazzi nga tegamala oba nga ssi mayonjo kireeta endwadde, kubanga abantu baba tebanaaba mu ngalo, ebyokulya tebabyoza n’obuligoligo obulala, kyenva nkowoola Gavumenti okubunyisa amazzi amayonjo mu ggwanga lyaffe” Katikkiro Mayiga.
Katikkiro bano abasabye okukubiriza abantu bonna abakolera mu butale okukozesa enkampa (gloves) kiyambeko okukendeeza ku kusaasaana kw’endwadde eziva ku bujama, eziyinza okuleetera abantu okusaasanya ensimbi ennyingi mu kujjanjaba endwadde ate nga zisinga kw’ezo ezandiguze enkampa.
Minisita wa Bulungibwansi, Obutondebwensi, Amazzi, n’Ekikula ky’abantu Owek. Hajjat Mariam Mayanja Nkalubo, agambye nti beetefuteefu okukwasiza awamu ne UWASNET okulaba nga emirimu gye basazeewo okukola mu Bwakabaka bwa Buganda bagituukiriza bulungi. Akikaatiriza nti bali bulindaala okussa omukono ku ndagaano y’omukago n’ekitongole kino.
Ye akulira UWASNET, Unia Musaazi agambye nti ekibawalirizza okutandika kampeyini ey’okubunyisa amazzi amayonjo n’okutumbula eby’obuyonjo mu butale kwe kubanga babadde balaba ng’obutale bulekeddwa emabega ate nga bukungannya abantu bangi, nga singa bulekebwa okusigala nga tebulina Mazzi mayonjo era nga bulimu obukyafu, endwadde zijja kweyongera mu bantu.

Ekitongole kino kyakaweereza bannayuganda okumala emyaka 25, nga wano mu Buganda kikolera ebitongole ebiri mu makumi 50.









