Bya Saava Kevins Kanyike
Busami-Busiro
Omutaka Gabunga Mubiru Zziikwa V asisinkanye bazzukulu be mu ttabamiruka atuuzidwa e Ssiga lya Wampona Mubiru Kirimungo e Busami mu ggombolola ya Ssaabawaali Kasanje mu Busiro.

Gabunga asinzidde ku mukolo guno n’ajjukiza abazzukulu nti bwe bakolera awamu Nnamulondo enywezebwa kwossa n’ekika okukulaakulana.
“Ssaabasajja essuubi alirina mu bika kyokka tunanyweza tutya ebika nga tetubikulaakulanyiza, tuneenyumiriza tutya mu kika kyaffe eky’e Mmamba nga kiri bwekityo bwekityo nga tetulina businziro, obusinziiro obwo bwe butaka bwaffe era mbakuutira bazzukulu bange mwenna tunyweze obutaka bwaffe nga tetwetundako ttaka” Omutaka Gabunga.
Ono yebazizza esigga lya Wampona olw’emirimu egikolebwa okukulaakulanya ekika ky’e Mmamba mu kaseera akatono ke yakatuuzibwa nga omutaka ”essiga lya Wampona libadde ssaale nnyo mu kukulaakulanya ekika era mbeebaza abazzukulu kinnoomu buli alina ky’akoze na buli alina ky’atodde na buli atambuza enjiri y’okukulaakulanya ekika, emirimu mingi egitambudde mu kasolya mu bbanga lino ery’omwaka ogumu era abazzukulu abawomye omutwe mu nteekateeka zino mbeebaza ate mbasaba obutassa mukono kuba emirimu tukyalina mingi” Omutaka Gabunga bw’ategeezezza.
Omutaka Gabunga era asabye abazadde b’abavubuka mu Buganda naddala abazira Mmamba okubasomesa ku buwangwa n’ennono nga tebabagayaririra naddala mu nsonga nga ez’okukiika ku bika kuba be basika b’enkya ate nga mirundi mingi balabiddwa nga be batunda ettaka lye bika bagule boda boda ezinabakutula amagulu ekika kisaneewo, era wano Gabunga asabye abazadde okulungamya abaana abo.

Omumyuka Owookubiri owa Katikkiro w’Ekika ky’e Mmamba Dennis Bugaya asabye abazira Mmamba okubaguliza ku bannaabwe naddala ku nsonga z’ekika kyabwe nga kino kya kuzza obumu mu kika kye Mmamba. Ono ku nsonga z’okutereka ensimbi alaze nti ekika kifuna amanyi oba kinafuwa okusinziira ku nfuna y’abazzukulu mu kika kale ono asabye abe ssiga lya Wampona okwetaba mu saving scheme y’essiga lyabwe.
Omukulu w’essiga lya Wampona Nsubuga David alaze nti essiga lye likolera wamu era baagunjjawo ekibiina ky’obweggassi ki ‘Wampona Saving Scheme’ ekibasobozesa okwekulaakulanya era ono asabye bonna ab’essiga lya Wampona okubeegatako mu nkulaakulaana gye bagungyizaawo.









