
Bya Pauline Nannyonjo
Kasubi-Kyaddondo
Emyaka giweze kkumi na gumu (11) bukya Bwakabaka bubakana n’eddimu ly’okuzzaawo ennyumba Muzibu-Azaala-Mpanga mu Masiro g’e Kasubi agakwata omuliro nga 16 Mugulansigo 2010, er mu kiseera ekyo negalangirirwa ng’ekimu ku bifo eby’obulambuzi ebiri mu katyabaga mu nsi yonna, ekitongole ki UNESCO ne kigateeka ku lukalala lw’ebifo ebyakosebwa.Enteekateeka

Enteekateeka nnyingi ezibangiddwawo era ebiteeso bingi ebyayisibwa okulaba nga amasiro ga ba Ssekabaka gaddizibwawo era ne wassibwawo n’akakiiko akakola ku mulimu guno nga kagoberera buli kyalina okukolebwa mu Masiro. Ssaabasajja yasiima kakulemberwe Owek. Kaddu Kiberu.
Amasiro ge Kasubi mulimu ba Ssekabaka bana (4); Muteesa I, Mwanga II, Chwa II ne Muteesa II nga bonna balina ebyafaayo eby’enkizo mu Bwakabaka bwa Buganda kyokka era kino kifo ekiggyayo ekitiibwa kya Buganda ate eky’obulambuzi eky’enjawulo mu Uganda.
Omulimu gw’okuddabiriza amasiro guzze guwomebwamu omutwe abantu abenjawulo nga ne mu 2013 Katikkiro wa Buganda Charles Peter Mayiga yalangirira enkola ye ttofaali eyagenderera okukuŋŋanya ensimbi okuva mu bantu ba Buganda okuwanirira omulimu gw’okuzzaawo Amasiro ago kyokka oluvannyuma Obwakabaka bwafuna okuyambibwako okwenjawulo okuva mu gavumenti yawakati n’amawanga g’ebweru nga Japan.
Omusingi gw’okuddamu okuzimba amasiro ge Kasubi gwasimibwa nga 13 Muzigo 2014 ekyawa ennyo Abaganda essuubi nti amasiro gano gaali gaakuddizibwawo. Wano omulimu tegwadda mabega okutuusa olwaleero nga 12/12/2025.
Olw’okuba nti waliwo ennono ez’okugobererwa wamu n’ebizimbisibwa ebyenjawulo ebitalabikalabika ku katale nga kwottadde n’okunonya ensimbi ezitaafunibwa lumu, omulimu guno gututte emyaka 11.Oluvanyuma lwa kaweefube ono yenna Obuganda bubuganye essanyu olw’okulangirira okukoleddwa Kamalabyonna Charles Peter Mayiga leero nga 12 Ntenvu 2025 nti omulimu gw’okuzaawo Muzibu-Azaala-Mpanga guwedde era n’alaga nti eddimu eddene eryatandikibwa emyaka 11 egiwedde gugusiddwa butereevu wadde nga wakyabulayo emirimu emitonotltono gy’agambye nti ssi mizibu okusinga egiwedde, ate nga n’egisinga ensimbi ezigimaliriza weziri.
Mu ngeri ey’enjawulo Katikkiro Mayiga alaze enteekateeka enaagobererwa mu kadde kano “tulina okukuuma ennyumba Muzibu-Azaala-Mpanga mu kitiibwa kyayo nga erabirirwa buli luvvanyuma lwa kiseera ekigere ereme kw’onooneka mu ngeri yonna, tulina okulabirira ennyumba enkulu eziri mu mbuga eno, okulabirira abazaana, abasiige, abaggalaggala n’abaweereza ab’emitendera egy’enjawulo nga bakuuma ebbugumu eriri mu kifo kino wamu n’okuwandiika kalonda yenna akwata ku masiro gano omuli ebyafaayo byago ebiyitiddwamu okugazzaawo ate n’ennono n’obuwangwa ebitambulira ku kifo kino, okwaniriza abagenyi bonna omuli n’abalambuzi, okutereka obulungi ensimbi ezivva mu balambuzi zituyambe okulabirira abantu abali mu masiro n’ebirala nkumu n’ekisembayo okukola entekateeka Nnamulanda ku nkwata ye kifo kwe twazimba buggwe’ Katikkiro bwanyonyoddeenteekateeka
Enteekateeka ye Kasubi.Kisaanidde kimanyibwe eri abantu bonna mu Nsi nti kati amasiro ge gamaliriziddwa mu butongole era gaakugulwawo olunaku olunaalangirirwa Katikkiro wa Buganda mu kulungamizibwa Kabaka.








