Bya Gerald Mulindwa
Lugazi – Kyaggwe
Olusirika lwa Bajjajja Abataka Abakulu Ab’Obusolya, ba Katikkiro b’Ebika, abakulembeze ba abavubukamu Bika, abanoonyereza ku Bika, abakiise mu lukiiko lwa Buganda, n’abaweereza mu Minisitule y’Obuwangwa, lutandise mu butongole ku St. Mary’s College Lugazi, Wansi w’omulamwa, “Tunyweze Ebika tukuume Nnamulondo”.

Olusirika luno olw’ennaku ebbiri lugguddwawo Omukubiriza w’Olukiiko lwa Buganda, Oweek Patrick Luwaga Mugumbule, nga y’atuusizza obubaka bwa Katikkiro.
Katikkiro Charles Peter Mayiga alaze obukulu bw’okunyweza obukulembeze mu Bika obukola nga olujegere olututuusa ku Kabaka era mu Bika mwe musibuka abasiige abakola emirimu egy’enjawulo mu Lubiri, era singa Ebika bikola emirimu nga bwekisuubirwa ne Nnamulondo enywera.
Omukubiriza w’Olukiiko lw’Abataka, Omutaka Namwama Augustine Kizito Mutumba, yebazizza abavubuka okwetaba mu lusirika luno nti kiwa essuubi ku biseera by’Ebika eby’omumaaso era kyongera okunyweza emirandira gy’Ebika kubanga mu Bika mwetukuumira obuwangwa n’ennono zaffe nga tufuna okwebuulirira ku nsonga z’empisa za Buganda.

Minisita w’Obuwangwa n’ennono, Oweek Anthony Wamala, ategeezezza Kamalabyonna ebyo byalabye mu lutabaalo lw’okukyalira obutaka bw’Ebika, n’agamba nti obutaka obusinga buli mu mbeera mbi ddala era n’avaayo n’ensonga nnya z’asuubira nti zijja kuyambako Ebika okuvvuunuka ebizibu, era ze zino; okuteekateeka n’okunyweza obukulembeze mu Bika, okukunga n’okwagazisa abazzukulu ensonga za Ebika, okukuuma obugagga bw’Ebika, n’Ebika okufuna omulimu oguyingiza ensimbi.
Omutandisi wa St Mary’s College Lugazi era omumyuka wa Ssekiboobo Asooka nga y’akiikiridde Ssekiboobo, Oweek Moses Ssennyonjo Kiyimba, asabye obwakabaka bulondeyo amasomero g’Obwakabaka oba ag’obwannanyini gasomese Abaana b’Abataka ebikwata ku Bika by’abwe okusobola okunyweza Emirandira gy’Ebika.









