• Tutukiriire
Gambuuze
Advertisement
  • Omuko Ogusooka
    Owek. Mayiga akubirizza abakulira Abasomaali okwenyigira mu nteekateeka z’ Obwakabaka

    Owek. Mayiga akubirizza abakulira Abasomaali okwenyigira mu nteekateeka z’ Obwakabaka

    Minisita Anthony Wamala akubirizza abantu okuwandiika ebibakwatako okukuuma omukululo

    Minisita Anthony Wamala akubirizza abantu okuwandiika ebibakwatako okukuuma omukululo

    Owek. Mayanja akunze abantu okukuuma Obutondebwensi

    Owek. Mayanja akunze abantu okukuuma Obutondebwensi

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    Ab’e  Masaka balaajanye mu muwendo gwa baana ogweyongedde

    Ab’e  Masaka balaajanye mu muwendo gwa baana ogweyongedde

    Kaggo Magandaazi atuuzizza Abaami b’emiruka, Abasabye okukuuma  ekitiibwa kya Buganda

    Kaggo Magandaazi atuuzizza Abaami b’emiruka, Abasabye okukuuma  ekitiibwa kya Buganda

    Abantu ba Beene basabiddwa okutumbula obuyonjo nga bayita mu Bulungibwansi

    Abantu ba Beene basabiddwa okutumbula obuyonjo nga bayita mu Bulungibwansi

    Olukiiko olutegesi lulambudde ekifo awanaakwatirwa olunaku lw’Abavubuka mu Buganda

    Olukiiko olutegesi lulambudde ekifo awanaakwatirwa olunaku lw’Abavubuka mu Buganda

    Owek. Kakomo asabye abantu okunnyweza Obumu

    Owek. Kakomo asabye abantu okunnyweza Obumu

  • Agafa e Mengo
  • Emboozi
  • Endowooza
  • Ebisanyusa
  • Ag’Ebweru
  • Ebyemizzanyo
No Result
View All Result

Home Amawulire

Aba Democratic Front bakyadde Embuga: Katikkiro alabudde ku byobufuzi eby’okuvumagana

Gambuuze by Gambuuze
December 2, 2025
in Amawulire
0 0
0
Aba Democratic Front bakyadde Embuga: Katikkiro alabudde ku byobufuzi eby’okuvumagana
0
SHARES
165
VIEWS
Share on FacebookShare on Twitter

Bya Maria Gorreth Namisagga

Mmengo – Kyaddondo

Bannakibiina ki Democratic Front bakyadde embuga nga bakulembeddwamu Pulezidenti waabwe Owekitiibwa Mathias Mpuuga Nsamba, Katikkiro abasabye okutandikirawo okulaga ebiruubirirwa ekibiina kyabwe, bitegeereke.

Kamalabyonna wa Buganda munnamateeka Charles Peter Mayiga mu kwogerako eri Banna-DF, mu bimuli bya Bulange , agambye nti omugole anaafumba, oluva mu kisenge nga abuuza enkumbi, n’ekisambu ky’anasambula, na bwatyo n’asaba bano okutandikirawo okulaga emiramwa gy’ekibiina kyabwe kwe kigenda okutambulira.

“Mukyali kibiina kito, kibiina kiggya, awo nno mutandikirewo okutulaga emiramwa kwe mutambulira,Omuganda agamba nti entamu ewulira gusooka, kyetbagaaza, kwe kutandikirawo okutulaga ebiruubirirwa ebinaatugasa, Omugole anaafumba, oluva mu kisenge nga abuuza enkumbi n’ekisambu kyanaakandula. era ndi musanyufu bwe mpulidde nti n’ensonga za Buganda ssemasonga ettaano muzitunuulidde, mutandikirewo, oyo ye mugole ow’ebyobufuzi anaafumba, ensonga za Buganda bwe zisoosowazibwa, Buganda n’etereera ne Uganda ey’awamu ejja kutereera” Katikkiro Mayiga.

Owoomumbuga banna-DF a abajjukizza nti ebyobufuzi ssi kazannyo kubanga ebyobufuzi ebibi bitta eggwanga n’abantu ,ate nga eby’obufuzi ebirungi biyitimusa eggwanga, bwatyo n’abakuutira okukola ebyobufuzi eby’ekisajja kikulu, baleme kuwanyisiganya bigambo na be bavuganya nabo.

Katikkiro era asinzidde wano n’akubiriza abo bonna bekikwatako okufuba okulaba nti eggwanga libeera n’akalulu akatali ka kuyiwa musaayi wadde okukuba abantu.

Ye Owekitiibwa Mathias Mpuuga Nsamba nga y’akulembeddemu banne ayongedde n’akaatiriza ensonga ey’obutasimbawo muntu yenna ku kifo ky’omukulembeze w’eggwanga, nti ekyabalemesa be bakulu abatwala eby’amateeka abaasuula mu kasero ebiteeso byabwe bye bawaayo nga baagala wabeewo ennongoseereza mu mateeka agafuga eby’okulonda, ate nga bbo nga ab’ekibiina ki DF, tebayinza kwetaba mu gy’okulonda, by’ayise eby’ekinyumo.

“Mwali mutubuuza nti lwaki tetulina presidential candidate, ne tubagamba nti kikulu nnyo okuvuganya ku bukulembeze bw’eggwanga era tetukkiriza kwesimbawo ng’omukolo, nti waliwo omukolo ogwokwesimbawo, n’olwekyo nti tuleete omuntu yesimbewo, tuleme kuyiitibwaako mukolo, okwesimbawo tetukitwaala nga mukolo tukitwaala nga nsonga nkulu,” Owek.Mpuuga.

Mpuuga yebazizza Obwakabaka olw’enkola ey’okwaniriza buli omu era ategeezeza mu nteekateeka ze balina ng’ekibiina baagala okulaba nti ensonga za Buganda zibeera ku mwanjo ddala. Ono ategeezeza nti basimbyewo abantu ab’enjawulo abagenda okulwanirira enkyukakyuka ze baagala okulaba mu Uganda.

Mu nsisinkano eno Kamalabyonna awerekeddwako Minisita avunaanyizibwa ku nsonga z’olukiiko n’Abagenyi mu Bwakabaka Owek. Noah Kiyimba ate nga Banna -Df abalala kubaddeko Ssentebe w’ekibiina kino Samuel WalterLubega Mukaaku, Dr.Abed Bwanika, Kasibante Moses, n’abakulembeze abalala.

Share this:

  • Tutukiriire

© 2021 Gambuuze - Obwakabaka bwa Buganda.

Welcome Back!

Login to your account below

Forgotten Password?

Retrieve your password

Please enter your username or email address to reset your password.

Log In

Add New Playlist

No Result
View All Result
  • Omuko Ogusooka
  • Agafa e Mengo
  • Emboozi
  • Endowooza
  • Ebisanyusa
  • Ag’Ebweru
  • Ebyemizzanyo

© 2021 Gambuuze - Obwakabaka bwa Buganda.