Bya Maria Gorreth Namisagga
Mmengo – Kyaddondo
Banna-NRM abavuganya ku bifo eby’enjawulo mu Buganda bakiise Embuga mu Bulange e Mmengo nga bakulembeddwamu Hon. Kyeyune Haruna Kasolo, Omumyuka wa Ssentebe wa NRM mu Buganda.

Katikkiro Charles Peter Mayiga mu kwaniriza bano azzeemu n’akikaatiriza nti mu Buganda abantu bonna baaniribwa awatali kutunuulira bibiina byabufuzi mwe bagwa, ddiini oba mawanga, era bwatyo n’abeebaza okukiika Embuga.
“Embuga eno bwe Butaka bwaffe ffenna abaana ba Kabaka, era nze Kabaka yantuma okwaniriza abantu bonna nga sifudde ku ndowooza zaabwe, eddiini, ebibiina by’obufuzi, obwa Eggwanga lye kasita otegeera nti Kabaka ye Kitaffe, ekyo bw’oba tokimanyi tojja” Katikkiro Mayiga.
Katikkiro Mayiga asinzidde wano n’akubiriza Bannabyabufuzi abali mu kunoonya akalulu okwewala okukola ebisuubizo bye bataatuukirize, babuulire abantu ebirowoozo bye balina ku nsonga ez’enjawulo ez’ebyobulamu, ebyenjigiriza, ebyobulimi n’ebirala.
“Mpulira abeesimbyewo kumpi bonna abanonya obwa Pulezidenti n’obubaka bwa Paalamenti, mutuusuubiza Ensi n’eggulu, nawulidde n’agamba nti agenda kuwa abavubuka abatalina mirimu emitwalo 20 buli mwezi, ezo ssente agenda kusiggya wa! Nze ndowooza bwenti, munnabyabufuzi asaana kutubuulira birowoozo bye sso ssi bisuubizo by’ataatuukirize, twagala okuwulira ebirowoozo byo ku byobulamu, eby’enjawulo, amalwaliro omutali ddagala, abavubuka abatalina emirimu n’ebiringa ebyo” Katikkiro Mayiga.
Kamalabyonna ategezeezza nti bannabyabufuzi abamu balemwa okuwa ebirowoozo ebinaazimba eggwanga ne badda ate mu kusuubiza ensi n’eggulu, nga tebataddeewo na nteekateeka nnungamu , ku ngeri gye bagenda kubituukirizaamu, n’ategeeza nti ebisuubizo tebiyamba bantu bonna, wabula biyamba bantu kinnoomu, kale ekirungi be bantu okuwa ebirowoozo ebinaazimba eggwanga ery’awamu.

Bannabyabufuzi, Kamalabyonna abasabye okwegendereza ennyo ensonga ezikwata ku Buganda naddala Ssaabasajja, akikaatiriza nti Obuganda tebujja kukkiriza oyo yenna ayogera ku Kabaka nga tamussaamu kitiibwa.Kyokka bano Katikkiro abasabye okufuba okusakira Obwakabaka, buleme kuyisibwako mikisa egyo Gavumenti gy’ebeera ettaddewo eri Bannansi kubanga n’Obuganda emikisa egyo bugyetaaga. Abakubirizza okukuuma obwa Sseruganda ne bannaabwe naddala mu kiseera kino eky’okunoonya akalulu.
Ye Amyuka Ssentebe wa NRM mu Buganda era Minisita avunanyizibwa ku bweggassi, Hon. Kyeyune Haruna Kasolo nga y’akulembeddemu banne, asiimye nnyo enkolagana ennungi eriwo wakati w’Obwakabaka ne Gavumenti eya wakati, era neyeeyama ku lwa banne nti beetefuteefu okutuusa ensonga za Buganda mu sseetesseerezo, era bajja na kukomangawo embuga bafune ebiteeso bya Buganda, ate basobole okubyanja eri abakulu be kikwatako.
Minisita wa Kampala Hajjat Minsa Kabanda, nga naye y’omu ku bakiise, asiimye nnyo olw’omukisa guno ogubaweereddwa okukkirizibwa okukiika embuga, ng’agamba nti ssi bakuva ku nnono za Buganda, era bajja kusigala nga bazigobeerera, ne bwe banaabanga balondeddwa mu bifo by’obukulembeze.
Ye Hajjat Faridah Nambi, Omukwaganya wa NRM mu Kampala n’emiriraano, yeyanzizza Kabaka olw’okubalera n’okwanirizanga ebibiina by’obufuzi byonna e Mmengo. Ono agamba nti “waliwo emyaka egyayita edda nga ffe banna- NRM tutya okujja e Mmengo nga waliwo ekifaananyi ekisiigibwa nti Mengo ya ‘opposition’, tukwebaza ggwe Katikkiro Charles Peter Mayig, ekifaananyi ekyo okiggyewo n’oyaniriza buli mwana yenna owa Buganda” Nambi annyonnyodde.
Abalala abakiise embuga kubaddeko Ssentebe w’ababaka ba NRM mu Buganda era omubaka owa Buvuma Robert Migadde Ndugwa, eyesimbyewo ku kyomubaka omukyala owa district eye Kampala, Amiinah Lukanga, eyesimbyewo ku kyomubaka omukyala owa district eye Lwengo Cissy Namujju, eyesimbyewo ku kyomubaka omukyala owa district eye Masaka Nalule Joanita, Hajji Muyanja Mbabaali, Minisita Hanifa Kawooya Bangirana, n’abalala.
Bano bawaddeyo n’ensimbi obukadde 10 okuwagira emirimu gy’Obwakabaka era Katikkiro abakwasizza ‘certificate’ ekakasa kino.










