Bya Miiro Shafik
Namungoona – Kyaddondo
Obutabanguko mu maka, abafumbo bakubiriziddwa okubeera n’amazima, obwerufu, obugumiikiriza, ensonyi, okuwuliziganya n’okuteekateeka abaana baabwe awatali kusosola muwala oba mulenzi.
Obwakabaka bwa Buganda butegese omusomo ku butabanguko mu maka oguyindidde ku ssomero; Namungoona Parents Junior School, eno abantu basomeddwa era ne bakubaganya ebirowoozo ku nsonga ezivaako embeera eno n’engeri gy’esobola okumalibwawo.

Minisita w’Ekikula ky’Abantu mu Bwakabaka Owek. Mariam Nkalubo Mayanja obubaka bwe mu nteekateeka eno abutisse Omuk. Peter Zzaake ng’ono ye mukwanaganya w’Ekikula ky’Abantu mu Bwakabaka.

Owek. Nkalubo agamba nti okutangira obutabanguko mu maka kutandika na muntu kinnoomu era kiva mu kutondawo emirembe mu maka. Bw’atyo akubirizza abafumbo n’abazadde okuwuliziganya mu buli mbeera, buli okwagaliza munne ekirungi olwo kibayambe okuvvuunuka n’ebisoomooza ebiteewalika mu bufumbo.
Omuky. Florence Nakaweesa Mubiru y’abadde omusomesa omukulu mu musomo guno, era ono tayawukanye nnyo ku bubaka bwa Minisita, akubirizza abafumbo okwetegeera, kibayambe okugumiikirizigana, okuwaŋŋana ekitiibwa na buli omu okussa ekitiibwa mu ndowooza y’omulala.
Ono akuutidde abazadde obutawa baana ddembe lisukkiridde ng’agamba nti lino emirundi mingi ly’e liviirako abaana okwonooneka ne batuuka n’obutawa bazadde baabwe bennyini kitiibwa.
Abantu abasoba mu 100 be beetabye mu musomo guno okuva mu Namungoona n’ebitundu ebirinanyewo. Bano basiimye nnyo enteekateeka eno Obwakabaka gye bubateereddewo era basabye eyongere okubunyisibwa kubanga ejja kuvaamu ebibala bingi singa abantu bategeera obukulu bw’amaka agatebenkedde.









