Bya Maria Gorreth Namisagga
Mmengo – Kyaddondo
Obwakabaka bulabudde Gavumenti ku by’abakuumaddembe okukuba abantu era busabye Gavumenti ya Uganda okukoma ku bakuumaaddembe, abayisa obubi bannabyabufuzi naddala abali ku ludda oluvuganya wamu n’abawagizi baabwe, nti singa tebakomebwako, bannayuganda boolekedde okufiirwa obulamu.
Minisita wa Gavumenti ez’Ebitundu mu Buganda Owek. Joseph Kawuki okulabula kuno akukoledde mu Bulange e Mmengo bw’abadde akiikiridde Katikkiro Mayiga mu kutikkula oluwalo oluleeteddwa abantu ba Ssabasajja okuva mu masaza okuli Buddu, Buvuma , Buweekula ne Busiro.
Minisita Kawuki agamba nti ebikolwa eby’okuyisa obubi abamu ku bannabyabufuzi nga bikolebwa abakuumaddembe bisusse era bwatyo n’asaba abakulira ebyokwerinda mu ggwanga lino okukoma ku basajja baabwe, buli omu asobole okunoonya akalulu mu ddembe, awatali kusika muguwa na muntu yenna.

Owek. Kawuki mu mbeera y’emu avumiridde nnyo bannabyabuufuzi abasusse okweyogerera amafuukule, ng’agamba nti kino tekigenda kubongera buwagizi , wabula okwongera okubalabisa obubi mu bantu be baagala okukulembera, ono akubirizza abanonya obululu balambike ensonga eri abalonzi ze balina okwesigamako okubalonda bave mu kwogera ebisongovu.
Minisita Kawuki asinzidde wano n’asaba abazadde okukuuma obulunji abaana baabwe, era, babayiigirize n’emirimu, naddala mu kaseera kano nga batandise okudda ewaka, olwo nno basobole okubeera abakulembeze abalungi ab’eggwanga ery’enkya.

Ye Omwami wa Ssaabasajja amulamulirako essaza Buvuma Mbuubi Mboowa Michael Wamala, ono y’akulembeddemu abakiise Embuga, asabye Obwakabaka buyingire mu nsonga z’ennyanja ezisuza ab’e Buvuma nga bakukunadde, ng’agamba nti eddoboozi ly’Obwakabaka oba oli linaataasa abavubi bafune ku buweerero okuva ku bakuumaaddembe abateekebwa ku nnyanja, baagambye nti bakwata bubi abavubi, babalemesezza okukola omulimu gwabwe mu ddembe.
Omubaka owa Kalungu East Mu palamenti, Joseph Gonzaga Ssewungu, naye omu ku bakiise Embuga agamba nti ayagala nnyo ebyenjigiriza bikyuke mu ggwanga lino era yebazizza Gavumenti ya Kabaka olw’amaanyi g’etadde ku byenjigiriza. Ono agamba nti kikulu nnyo essira bwe liteekebwa ku nsonga ey’amatendekero agasomesa ebyemikono, kubanga eggwanga buli olukya libanja abantu abalina obukugu mu byemikono.

Ensimbi ezisobye mu bukadde 31, ze zireeteddwa, okuva mu ggombola; Mumyuka Kalungu, Ssabawaali Kasanje, Mumyuka Bagezza, Mumyuka Bagaya, Ssaabaddu Busamuzi, Ssaabagabo Nayirambi, Ssaabawaali Bwema, ne Musaale Ssejja.









