Bya Miiro Shafik
Mmengo – Kyaddondo
Obwakabaka bwa Buganda bulabudde ku byobufuzi ebyawulayawula mu bantu, nti ye kanaaluzaala w’obusambattuko obutaggwa mu mawanga.
Bino bibadde mu bubaka bw’Omumyuka Asooka owa Katikkiro Owek. Prof. Twaha Kigongo Kaawaase bw’abadde asisinkanye bannamagye okuva e Nigeria abakyaddeko mu Bulange e Mengo okubaako bye basoma ku Bwakabaka ng’emu ku nteekateeka gye balina mu misomo gye baliko egy’okwongera okukuguka mu kukuuma emirembe mu Ggwanga lyabwe.

Owek. Kaawaase ku lw’Obwakabaka bwa Buganda y’ayanirizza abagenyi b’Embuga bano n’ababuulira ku byafaayo by’Obwakabaka eby’enjawulo, engeri gye butambuzaamu emirimu gyabwo wamu n’engeri gye bukolaganamu ne Gavumenti wakati mu Nsi ejjudde ebyobufuzi eby’ebibiina ebingi.
“Eggwanga lyaffe lirimu ebyobufuzi bye tumanyi obulungi nti byawulayawula bantu, era ng’Obwakabaka tetweyingiza mu byabufuzi bwa Ggwanga, twaniriza buli muntu ajja Embuga, kyokka oluusi tubiwulira, bye tukyaza aba Gavumenti, ab’oludda oluvuganya nga batwogerera, bwe tukyaza ab’oludda oluvuganya nga Gavumenti egamba tukolagana nabo, wabula ekyo tekituggya ku mulamwa, ffe tetweyingiza mu byabufuzi” Owek. Kaawaase.
Prof. Kaawaase alabudde ku ngeri abavubuka gye bayisibwamu mu Ggwanga, ng’agamba nti singa tebayambibwako kubeera na bulamu bulungi, be batera okubaako obusambatuko olw’okuluubirira okubeera n’obulamu obulungi bwe balaba nga ababakulembera tebabubawadde. Ategeezezza nti Obwakabaka bwasalawo okusoosowaza abavubuka mu nsonga zonna basobole okuwagirwa n’okusituka mu byenfuna, obukulembeze n’Ensonga endala.
Prof. Kaawaase asabye obukulembeze mu ggwanga lya Nigeria okutonderawo abavubuka emirimu bwebaba baakumalawo ebikolwa by’obusambattuko ebyafuuka baana baliwo mu Nigeria, abakuutidde okutumbula obumu kubanga eno y’emu ku mpagi Sseddugge eziyamba amawanga okukuuma emirembe.

“Okuva mu busambatuko bwa 1966 obwaviirako ne Ssekabaka Muteesa II okugenda mu buwanganguse, oba oli awo nga buno bwava ku kuba nti Kabaka yali aweereddwa obwa President ekitaasanyusa eyali Ssaabaminisita Obote, eyasalawo okuggyawo Obwakabaka. Mu 1993, Obwakabaka bwe bwaddawo, essira tuliteeka nnyo ku Bumu era Kabaka wabeera n’abantu ba Buganda babeerawo mu bungi era mu Bumu ne bamwebungulula” Prof. Kaawaase.
Brig. Gen. Nuc Ogili, akulembeddemu abagenyi b’Embuga ategezeza nti bakimanyi bulungi nti emyaka 40 egiyise Uganda erabikiddemu emirembe nga teriimu busambattuko bwa maanyi, agamba nti kino kivudde ku nkolagana ennungi wakati w’abantu ba bulijjo ne gavumenti nga kino kikulembererwamu abakulembeze ab’ennono ate nga Buganda ky’ekitundu ekisinga abantu abangi n’obukulembeze obuggumidde mu Uganda. Kale eno y’emu ku nsonga eyabatanudde okukyala Embuga okubaako bye bayiga, Obwakabaka bwa Buganda bubalambike ku ngeri nabo gye bayinza okukikolamu ewaabwe.
Abagenyi b’embuga banonbasirikale mu ggye lya Nigeria era bayizi abasoma obujjaasi okuva ku ttendekro ly’amagye li Nigeria Armed Forces Command and Staff College, bano balambuziddwa n’ekisenge omutuula olukiiko lwa Buganda, batuuseeko mu Lubiri e Mmengo ne mu masiro e Kasubi.










