Katikkiro akoowodde abazadde okutwala abaana baabwe babageme olukusense, Rubella ne Polio. Katikkiro agambye nti, “Temusigalira mabega, abaana mubatwale babageme babeere balamu lwebajja okuzimba Buganda gyetwagala enetwegombesa ate ne Uganda enywevu gyetweyagaliramu ffenna awamu”. Katikkiro agambye nti ensonga ssemasonga ey’okuna (4) ey’okukola obutaweera etunuulidde abantu abalamu obulungi kubanga omuntu omulamu yasobola okukola, okuyingiza, n’okwebezaawo era yasobola okuzza Buganda ku ntikko.
Ategeezezza nti obulwadde bwa Rubella bukyali buggya mu ggwanga naye bwa bulabe nnyo era butta abaana wamu ne Polio, era omukisa bweguba guzze abantu basaanye bagweyambise. Era Katikkiro ategeezeza nti okugema tekutandise leero nti kuva dda abantu balinga bagemebwa endwadde ezitali zimu.
Katikkiro okwogera bino abadde awayamu ne bannamawulire mu Butikkiro akawungeezi ka leero.