• Tutukiriire
Gambuuze
Advertisement
  • Omuko Ogusooka
    Owek. Mayiga akubirizza abakulira Abasomaali okwenyigira mu nteekateeka z’ Obwakabaka

    Minisita Anthony Wamala akubirizza abantu okuwandiika ebibakwatako okukuuma omukululo

    Owek. Mayanja akunze abantu okukuuma Obutondebwensi

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    Ab’e  Masaka balaajanye mu muwendo gwa baana ogweyongedde

    Kaggo Magandaazi atuuzizza Abaami b’emiruka, Abasabye okukuuma  ekitiibwa kya Buganda

    Abantu ba Beene basabiddwa okutumbula obuyonjo nga bayita mu Bulungibwansi

    Olukiiko olutegesi lulambudde ekifo awanaakwatirwa olunaku lw’Abavubuka mu Buganda

    Owek. Kakomo asabye abantu okunnyweza Obumu

  • Agafa e Mengo
  • Emboozi
  • Endowooza
  • Ebisanyusa
  • Ag’Ebweru
  • Ebyemizzanyo
No Result
View All Result

Home Amawulire

Buganda Eweerezza Abantu 100 e Kenya Okubangulwa mu Byobulimi

Gambuuze by Gambuuze
November 5, 2025
in Amawulire
0 0
0
Buganda Eweerezza Abantu 100 e Kenya Okubangulwa mu Byobulimi
0
SHARES
126
VIEWS
Share on FacebookShare on Twitter

Bya Pauline Nanyonjo

Bulange-Mmengo

Ekibinja ky’abantu 100 ab’emitendera egy’enjawulo mu Bwakabaka bwa Buganda, kisimbuddwa Minisita Hajji Amisi Kakomo okwolekera Eggwanga lya Kenya nga muno mulimu abalimi n’abalunzi.

Mu bagenze kuliko; Abataka abakulu Ab’Obusolya, abakulembeze mu Bika, ab’Amasaza, n’abantu abalala. Bano bagenze okwongera okubangulwa ku nnima empya nga omulimi akozesa ettaka erirabibwa nga effunda n’alimirako ebirime ebisuka mu kimu kyokka ng’asobola n’okulundirako basobole okuvuganya ku katale ke nsi yonna nga olutabaalo luno lukulembeddwamu Kabaka Foundation. Eno baakumalayo ennaku 5 nga basomesebwa.

Minisita w’obulimi n’obulunzi mu Buganda Hajji Amisi Kakomo nga y’asimbudde ekibinja ky’abalimi okuva e Bulange, Mmengo asabye abagenze okuteekawo omwoyo ku bigenda okubasomesebwa bwe bakomawo basobole okugabanako n’abalimi abalala be balese eka.

Minisita Kakomo ajjukiza abalimi nti ekiruubirirwa ky’enteekateeka zino zonna mu Buganda kwe kuzzaayo Buganda mu kifo kyayo mu by’obulimi kye yalimu nga yesinga okufulumya emmwanyi n’emmere eriibwa.

Ye Omukubiriza w’Olukiiko lw’Abataka Namwama Augustine Kizito Mutumba naye eyatabye mu nteekateeka eno, agamba nti Abataka okusitukiramu kabonero akagenderera okwagazisa abazzukulu naddala abavubuka obulimi okubutwala ng’ensibuko y’obugagga bwe bayaayanira.

Ssaabawolereza wa Buganda Owek. Christopher Bwanika ng’ono mukiise ku bboodi ya Kabaka Foundation, yebazizza Ssaabasajja Kabaka olw’okutemera nga abantu be amakubo g’enkulaakulana buli lukya era ono asabye abalimi bano okuyiga obulungi byonna ebinaabasomesebwa bakomewo babiteeke mu nkola.

Ssenkulu wa Kabaka Foundation Edward Kaggwa Ndagala akubirizza abalimi abatwaliddwa e Kenya okulowooza ku katale k’emmere akatwalibwa e ggwanga lya Kenya, “Kenya yajja kuno n’ewamba akatale kaffe konna kuba bw’oyimirira mu butale bwa Uganda ku ssaawa kkumi ez’ekiro emmotoka z’e Kenya ziba zitikula bintu kyokka ffe wano tubasinza ettaka eddungi erisobola okufulumya ebirime okubasinga” Omuk. Ndagala bw’anyonyodde.

Ekitongole ki Kabaka Foundation mu nteekateeka eno ey’okusomesa abalimi ennima ey’omulembe mu Ggwanga lya Kenya kutambulira wamu n’ekitongole ki Heifa International ne Bannamukago abalala.

Share this:

  • Tutukiriire

© 2021 Gambuuze - Obwakabaka bwa Buganda.

Welcome Back!

Login to your account below

Forgotten Password?

Retrieve your password

Please enter your username or email address to reset your password.

Log In

Add New Playlist