Bya Miiro Shafik
Mmengo – Kyaddondo
Katikkiro Charles Peter Mayiga asisinkanye abakulembeze b’abavubuka mu ekelezia Katolika ey’essaza ekkulu erya Kampala nga bakulebeddwamu Rev. Fr. Joseph Mary Ssebunnya. Bano Katikkiro abasisinkanidde mu maka ge amatongole Butikkiro.

Katikkiro mu bubaka bwe, bano abakubirizza bulijjo okukola ekituufu mu budde obutuufu era basookenga kubyetegereza n’okwefumiitiriza mu bye boogera ne bye bakola. Abawadde amagezi okubeera abakozi mu buli kimu kye balaba kibayambe okutwala mu maaso ensi yabwe.
“Omuganda agamba nti; ‘Akakyama amamera, bw’okagolola kamenyeka bumenyesi’ Omuvubuka bw’atakwata kituufu, bw’akula amenyeka, Kabaka Mutebi II yawa abavubuka omulembe gwe, y’ayagala bakole ebintu mu biseera byabyo; okusoma, okuwasa n’okufumbirwa, okukola, okutegeera eddiini yo n’ebirala olina kubikola ng’oli muvubuka.
Owek. Mayiga avumiridde abavubuka abagufudde omugano okuganza abakazi wamu n’abasajja abakadde olumala ne baddukira mu bakugu bafune enzaalo, obuzibu abutadde ku buteeteekateeka bulungi, era bwatyo asabye abavubuka ku buli kye bakola okufuba okwegeka obulungi.
Owoomumbuga alabudde abavubuka ku nkozesa y’omutimbagano ng’agamba nti waliwo abagukozesa okuwubya abantu, era asekeredde abantu abo abalanduuka n’ebyo ebisangiddwa ku mutimbagano bw’awadde eky’okulabirako bwe yali e Nakivubo ku mupiira ogw’aggalawo empaka z’amasaza, waliwo abatamanyaŋŋamba abawandiika nti abiddwako essimu, agamba nti bano baluubirira okubuzaabuza essanyu ly’abantu okulaba ku Maasomoogi.

Katikkiro asinzidde wano era ne yebaza Ekelezia Katolika olw’okuteekawo ekitongole ekiruŋŋamya abavubuka ne basobola okumanya n’okuyiga ebintu eby’enjawulo mu kiseera ekituufu.
Rev. Fr. Joseph Mary Ssebunnya, ategeezezza nti mu kunyweza abavubuka bano, bangi abakubiriza okutegeera obuwangwa bwabwe, gye bava era ekelezia esobodde okussaawo enteekateeka ez’okulaakulanya abavubuka nga tebasinziridde ku ddiini omuntu mwava, wabula okutegeera obusobozi bwa buli omu okumuwagira mw’ebyo by’asobola. Ono agamba nti obuwangwa kikulu nnyo era asanyuka nnyo bw’alaba abavubuka nga bakola bye balina okukola ku buwangwa bwabwe.
Ssentebe w’abavubuka bano, Sserunjogi Alex yebazizza Obuganda olw’enteekateeka z’enkulankulana ze bateerawo abavubuka, ne yeyanza Kabaka olwa kaweefube gw’aliko ow’okulwanyisa obulwadde bwa mukenenya mu Buganda ne Uganda, wamu n’amaanyi g’atadde ku nsonga y’obutondebwensi. Wano asabye bavubuka banne okwegatta ku Bwakabaka basobole okulwanyisa enkola ey’okutyobola obutondebwensi kubanga nabo beetaaga Buganda eteredde.
Bano bakwasizza Katikkiro ekitabo ekyogera ku nteekateeka gye balina ku butondebwensi, bawaddeyo ensimbi z’oluwalo okuwagira emirimu gy’Obwakabaka era bamutegeezezza ne ku nteekateeka gye balina ey’emisinde egiruubirira okunnyikiza obukulu bw’okukuuma obutondebwensi.









