• Tutukiriire
Gambuuze
Advertisement
  • Omuko Ogusooka
    Owek. Mayiga akubirizza abakulira Abasomaali okwenyigira mu nteekateeka z’ Obwakabaka

    Owek. Mayiga akubirizza abakulira Abasomaali okwenyigira mu nteekateeka z’ Obwakabaka

    Minisita Anthony Wamala akubirizza abantu okuwandiika ebibakwatako okukuuma omukululo

    Minisita Anthony Wamala akubirizza abantu okuwandiika ebibakwatako okukuuma omukululo

    Owek. Mayanja akunze abantu okukuuma Obutondebwensi

    Owek. Mayanja akunze abantu okukuuma Obutondebwensi

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    Ab’e  Masaka balaajanye mu muwendo gwa baana ogweyongedde

    Ab’e  Masaka balaajanye mu muwendo gwa baana ogweyongedde

    Kaggo Magandaazi atuuzizza Abaami b’emiruka, Abasabye okukuuma  ekitiibwa kya Buganda

    Kaggo Magandaazi atuuzizza Abaami b’emiruka, Abasabye okukuuma  ekitiibwa kya Buganda

    Abantu ba Beene basabiddwa okutumbula obuyonjo nga bayita mu Bulungibwansi

    Abantu ba Beene basabiddwa okutumbula obuyonjo nga bayita mu Bulungibwansi

    Olukiiko olutegesi lulambudde ekifo awanaakwatirwa olunaku lw’Abavubuka mu Buganda

    Olukiiko olutegesi lulambudde ekifo awanaakwatirwa olunaku lw’Abavubuka mu Buganda

    Owek. Kakomo asabye abantu okunnyweza Obumu

    Owek. Kakomo asabye abantu okunnyweza Obumu

  • Agafa e Mengo
  • Emboozi
  • Endowooza
  • Ebisanyusa
  • Ag’Ebweru
  • Ebyemizzanyo
No Result
View All Result

Home Amawulire

Okusabira Raila Odinga mu Uganda: Obwakabaka butenderezza obuweereza bwe

Gambuuze by Gambuuze
October 28, 2025
in Amawulire
0 0
0
0
SHARES
167
VIEWS
Share on FacebookShare on Twitter

Bya Samuel Stuart Jjingo

Kampala – Kyaddondo

Obwakabaka butenderezza emirimu egyakolebwa eyali Ssaabaminisita wa Kenya Rt. Hon. Raila Amollo Odinga.

Obubaka bw’Obwakabaka okuva mu woofiisi ya Katikkiro, busomeddwa Oweek. David FK Mpanga bw’abadde yeetabye mu kusaba okutegekeddwa okujjukira omugenzi ku All Saints Cathedral, Kampala e Nakasero.

Katikkiro Charles Peter Mayiga, mu bubaka bwe, ategeezezza nti Ssaabasajja Kabaka n’Abantu ba Buganda bajjukira nnyo enkolagana y’omugenzi, ab’Enju ye awamu n’Obwakabaka okuviira ddala ku mulembe gwa Ssekabaka Edward Muteesa II.

“Emirundi mingi nnyo Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II yakyaliranga Raila Odinga ekiraga enkolagana, okwagalagana n’ebiruubirilwa bya Africa eby’awamu,” Katikkiro.

Katikkiro atenderezza nnyo obuvumu n’obuweerezaabwe eri eggwanga ne mu kaseera akakazigizigi omwali n’okusibwa emirundi egy’enjawulo byonna byaleka omukululo ku nfuga eya demokulasiya mu ggwanga lya Kenya. Katikkiro akubagizza ab’Enju y’omugenzi okuli mukyala we Ida Odinga, ab’oluganda ne bannansi b’eggwanga lya Kenya.

Mu bubaka bwa Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni obusomeddwa Ssaabaminisita Muky. Robinah Nabbanja, alaze okunyolwa wamu ne bannansi be Kenya abafiiriddwa omuntu abadde aluubirira e nnyo okuteekawo enkolagana wakati wa Kenya n’amawanga amalala nga takulembezza bya bufuzi.

Prof. Anyang Nyong’o gavana wa Kisumu mu Kenya, atenderezza nnyo Raila Odinga gw’agambye nti yatulugunyizibwa, nasibibwa wabula yagaana okusirika n’okukyawa abantu bonna abaali bamulwanyisa nga aluubirira okutuukiriza obw’enkanya eri bannansi n’asaba abantu okuzimbira kw’ebyo byalaze Ensi nti bisoboka okutuukikako.

Omutegesi w’okusaba kuno Capt. Mike Mukula, agambye nti Raila Odinga abadde akiikirira bulungi ebiruubirirwa by’okutuukiriza demokulasiya eyetabwamu buli kibiina ky’ebyobufuzi mu ggwanga ly’e Kenya.

Ssaabalabirizi w’Ekkanisa ya Uganda Rt. Rev Samuel Steven Kazimba Mugalu, akubirizza abakkiriza okulabira ku mugenzi Raila Odinga okubeera abasaale mu kutembeeta emirembe mu ggwanga n’okunyweza obwenkanya mu ssiga eddamuzi.

Okusaba kuno kwetabiddwamu ab’Enju y’Omugenzi Raila Odinga abakulembeddwa muwala we Rosemary Adiambo Odinga, Prof. Anyang Nyong’o gavana w’e Kisumu, ba Minisita okuva mu gavumenti ya wakati, abakulembeze b’ebibiina by’obufuzi nabalala.

Share this:

  • Tutukiriire

© 2021 Gambuuze - Obwakabaka bwa Buganda.

Welcome Back!

Login to your account below

Forgotten Password?

Retrieve your password

Please enter your username or email address to reset your password.

Log In

Add New Playlist

No Result
View All Result
  • Omuko Ogusooka
  • Agafa e Mengo
  • Emboozi
  • Endowooza
  • Ebisanyusa
  • Ag’Ebweru
  • Ebyemizzanyo

© 2021 Gambuuze - Obwakabaka bwa Buganda.