Obubaka bwa Ssaabasajja Kabaka ku mukolo ogw’okukuza emyaka 100 bukya kelezia y’e Lubaga etukuzibwa, mbutuusizza mu Lutikko leero.
Tuyozaayoza Ssaabassumba, omukulu w’ekifo, bannaddiini n’abakristu mwenna okukuzza emyaka 100 bukya Kelezia y’e Lubaga etandika omulimu ogw’okuyigiriza abantu baffe eddiini, emirembe n’okwegatta. Mwebale nnyo, mwebalire ddala.

Ebyafaayo biraga nti okuviira ddala ku Ssekabaka Muteesa ow’olubereberye, Kelezia n’Obwakabaka bwa Buganda bibaddewo mu ddembe, okukolera awamu era nga buli omu yeebuza ku munne ku lw’obulungi bw’abantu baffe. Enkolagana eno evuddemu ebirala bingi omuli abakulembeze abaweerezza obulungi Obwakabaka n’eggwanga lyaffe. Twagala tukuume enkolagana eno.
Twenyumirizza nnyo mu ngeri Kelezia eno gy’etuusizza obuweereza n’eddoboozi lya Kristo eri abantu baffe ng’eyita mu kuggulawo ebigo, amasomero, amalwaliro, n’ebintu ebirala.
Tukimanyi bulungi omulimu guno tegutuukikako awatali bukulembeze bulungi n’okwewaayo kw’Abakristu. N’olwekyo, twebaaza n’okukubiriza abakristu okwongera okuwagira enteekateeka zino n’endala ezibangibwawo olw’okutumbula obulamu bw’omuntu wabulijjo.
Ebiseera bingi tuwulidde Kelezia ng’evumirira embeera ezinyigirizza abantu omuli; okusosolwa olw’eddiini, eggwanga n’endoowoza zaabwe mu by’obufuzi. Obuvumu buno obw’okwogera amazima, okulwanirira eddembe, okwegatta n’okussa ekitiibwa mu ddembe ly’obuntu, tusaba Kelezia ebwongere mu maaso. Ffenna wamu tukubirize abantu baffe naddala abavubuka obutakyamizibwa buyinza wadde okugulibwa ssente ng’eggwanga lyaffe liggwaawo olwa banannyabufuzi abekkusa bokka na bokka.
Ekiseera kituuse, ffenna okugatta eddoboozi okusaba abatukulembera ne Bannayuganda bonna okukubaganya ebirowoozo ku butali bumativu obuli mu kukulemberwa n’okugabana eby’obugagga by’ensi yaffe mu kyenkanyi nga tuyita mu kwekebejja Konsitityusoni n’amateeka amalala agafuga eggwanga lyaffe. Guno omulimu twagutandikako dda. Tubasaba twongere okugatta eddoboozi ery’awamu ku nsonga eno.
Tuddamu okubayozaayoza olw’okutuuka ku lunaku luno era twebaaza n’abo bonna abayambye mu kuddaabiriza Kelezia eno. Tusaba enkolagana ya Kelezia n’Obwakabaka bwa Buganda eyongere okunywezebwa.
Omukama Abakuume.
Obubaka bwa Ssaabasajja Kabaka mu Ekelezia e Lubaga busomeddwa Katikkiro Charles Peter Mayiga.









