Bya Pauline Nanyonjo
Bulange-Mmengo
Ssingo ne Buweekula ge Masaza agaatuuse ku luzannya olw’akamalirizo olw’empaka z’omupiira gw’Amasaza 2025. Ssingo okuyitawo yakubye Bugerere ggoolo 2-1 omugatte mu nzannya zombi ez’omutendera oguddirira ogw’akamalirizo ate Buweekula yaggyeko Kyaggwe mu bunnya ggoolo 4-3 oluvannyuma lw’okulemagana 1-1 mu mupiira gyombi omugatte.

Buegere ne Kyaggwe bajja kulwanira ekifo ekyokusatu nga 1/11/2025 mu kisaawe e Nakivubo ate ku fayinolo Ssingo ne Buweekula balwanira ekikopo kya nnantamegwa w’omwaka guno. Essaza Buweekula likiika omulundi gwalyo ogw’okuna ku luzannya olw’akamalirizo kyokka nga tewangulangako kikopo kino so nga Ssingo yakatuuka ku fayinolo emirundi ena n’ewangula ekikopo emirundi ebiri.
Mu kuluŋŋamya engula ya ‘ticket’ eri abo abanalaba omupiira ogwo obutereevu mu kisaawe e Nakivubo, Minisita w’Abavubuka Emizannyo n’Ebitone Robert Serwanga amenye ebifo omutundibwa ticket nga asabye buli ayagala okubeera ku kisaawe e Nakivubo okugula ticket mu kifo ekimenyedwa kyokka ate mu budde.
Mu bifo ebimenyeddwa omutundibwa ticket kwe kuli Unique garments e Kyaggwe, ku geeti ya Bulange e Mmengo, Buildmax Hardware ne Nsanja agro Chemicals mu Kampala. Abe Bugerere, Buwekula ne Ssingo ticket zitundibwa ku ssaza.
Ku miwendo gya ticket zino Minisita Sserwanga alaze nti ku mitwalo 30,000 munnayganda afuna ticket eyabulijjo, VIP ya 50,000 ate VVIP ya 150,000 naye akubidde abawagizi b’omupiira omulanga okugula ticket mu bifo ebyo byoka ebiragidwa kuba waze walabikawo okucupula kwa ticket so nga ku luno omuntu yenna anakwatibwa ne ticket encupule ajja kukwatibwa abatuuse ku bakozi baazo.
Mu ngeri y’emu minisita Serwanga anyonyodde nti waliyo abo abasubula ticket zino n’ebazongeza ebbeyi mu nnaku ezisembayo wano abasabye abawagizi b’omupiira okwetekateeka nga bukyali kuba nabo ticket bazitadde ku katale nga bukyali.

Minisita Sserwanga ajjukiza abo abatakwata biseera bya kugula ticket nga balinda okuzigula ku mulyango nti kuluno tewali ticket zijjakutundibwa ku miryango kale bakwate ebiseera.









