• Tutukiriire
Gambuuze
Advertisement
  • Omuko Ogusooka
    Owek. Mayiga akubirizza abakulira Abasomaali okwenyigira mu nteekateeka z’ Obwakabaka

    Owek. Mayiga akubirizza abakulira Abasomaali okwenyigira mu nteekateeka z’ Obwakabaka

    Minisita Anthony Wamala akubirizza abantu okuwandiika ebibakwatako okukuuma omukululo

    Minisita Anthony Wamala akubirizza abantu okuwandiika ebibakwatako okukuuma omukululo

    Owek. Mayanja akunze abantu okukuuma Obutondebwensi

    Owek. Mayanja akunze abantu okukuuma Obutondebwensi

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    Ab’e  Masaka balaajanye mu muwendo gwa baana ogweyongedde

    Ab’e  Masaka balaajanye mu muwendo gwa baana ogweyongedde

    Kaggo Magandaazi atuuzizza Abaami b’emiruka, Abasabye okukuuma  ekitiibwa kya Buganda

    Kaggo Magandaazi atuuzizza Abaami b’emiruka, Abasabye okukuuma  ekitiibwa kya Buganda

    Abantu ba Beene basabiddwa okutumbula obuyonjo nga bayita mu Bulungibwansi

    Abantu ba Beene basabiddwa okutumbula obuyonjo nga bayita mu Bulungibwansi

    Olukiiko olutegesi lulambudde ekifo awanaakwatirwa olunaku lw’Abavubuka mu Buganda

    Olukiiko olutegesi lulambudde ekifo awanaakwatirwa olunaku lw’Abavubuka mu Buganda

    Owek. Kakomo asabye abantu okunnyweza Obumu

    Owek. Kakomo asabye abantu okunnyweza Obumu

  • Agafa e Mengo
  • Emboozi
  • Endowooza
  • Ebisanyusa
  • Ag’Ebweru
  • Ebyemizzanyo
No Result
View All Result

Home Amawulire

Omwami w’Essaza Mawokota Ow’Ekiseera Atuuziddwa

Gambuuze by Gambuuze
October 20, 2025
in Amawulire
0 0
0
Omwami w’Essaza Mawokota Ow’Ekiseera Atuuziddwa
0
SHARES
374
VIEWS
Share on FacebookShare on Twitter

Bya Samuel Stuart Jjingo

Mawokota

Hajj Hassan Kasujja Kagga atuuziddwa okukulembera Essaza Mawokota, azze mu bigere bya Sarah Nannono Kaweesi eyalondeddwa mu buvunanyizibwa obulala. Hajj Kagga entebe eno akuuma nkuume mu kiseera kino

Owek. Sarah Nannono awaddeyo alipoota eri Hajj Kagga mu maaso ga Minisita w’Amawulire, Okukunga Abantu era Omwogezi w’Obwakabaka Oweek. Israel Kazibwe Kitooke ku mbuga y’esaza e Butoolo.

Oweek. Kazibwe alambise nti Obwakabaka tebulina buzibu na muntu yenna eyeggwaniza ekifo kyonna nga muweereza wa Ssaabasajja Kabaka naye basaanidde okwegendereza engeri gye bawaayo woofiisi zaabwe. Minisita agasseko nti abawereza mu Bwakabaka tebasikangana bittoji wabula bawaayo woofiisi mu mirembe olw’ekifanaanyi ky’obuweereza bwe baddemu bwatyo yebazizza Kayima awummudde olw’okuwaayo alipoota mu mirembe.

Owek. Kazibwe asabye Bannamawokota okukwatirako Hajj Hassan Kagga awamu n’omumyuka we Mw. Godfrey Pizaroh Mujjuzi mu buwereza buno. Minisita agamba nti omukulembeze mu Bwakabaka asaanidde okuteeka okutu kwe ku ttaka okuwuliriza abantu be kye bamugamba, okubeera omwetowaze, okubaako by’atunuliidde okukola, obutelumaaluma na banne nga byonna bigenderera okussa ekitiibwa eri Nnamulondo.

Okuva ku ddyo, Owek. Israel Kazibwe Kitooke, Hajj Hassan Kagga Kayima omuggya, awamu n’omumyuka we Mw. Godfrey Pizaroh Mujjuzi asembayo ku kkono ate mu gomesi ye Owek. Sarah Nannono

Kayima omuwummuze, Sarah Nannono awaddeyo alipoota erambika ebyo ebituukiddwako mu bbanga ly’abereedde Kayima omubadde; okuddaabiriza embuga, enju ya Kayima “Musaale”, okununula ebitundu ebimu, okuteeka amataala okuyambako mu kiro, okutumbula ebyemizannyo, okuzimba bbuggwe ku kisaawe ky’essaza, okuteeka akatimba okwetolola embuga, okukuuma n’okutaasa ettaka lya Kabaka, ennimiro y’emmwanyi n’ebintu ebirala.

Ye alondeddwa okukuuma essaza, Hajj Hassan Kagga asabye abantu bonna okumukwatirako mu buweereza buno era aweze okukola emirimu ga Beene mu bwerufu. Nga bweri enkola, Oweek. Nannono yawandiikira Kamalabyonna bwe yafuna obuvunanyizibwa obulala okuva ew’omukulembeze w’eggwanga n’okutuusa bw’awabaddeyo woofiisi mu butongole.

Minisita Kazibwe mu nteekateeka eno awerekeddwako Ssenkulu wa BUCADEF Omuk. Alfred Bakyuusa, Omukwanaganya wa Gavumenti ez’Ebitundu Mw. Harris Lubega n’abantu abalala bangi abeetabye ku mukolo guno.

Share this:

  • Tutukiriire

© 2021 Gambuuze - Obwakabaka bwa Buganda.

Welcome Back!

Login to your account below

Forgotten Password?

Retrieve your password

Please enter your username or email address to reset your password.

Log In

Add New Playlist

No Result
View All Result
  • Omuko Ogusooka
  • Agafa e Mengo
  • Emboozi
  • Endowooza
  • Ebisanyusa
  • Ag’Ebweru
  • Ebyemizzanyo

© 2021 Gambuuze - Obwakabaka bwa Buganda.