Bya Miiro Shafik
Mmengo – Kyaddondo
Obwakabaka bwa Buganda okuyita mu woofiisi ya Katikkiro, bufulumizza ekiwandiiko ekirabula ku maloboozi agawulikise nga gagamba nti ettaka ly’ennyanja ya Kabaka lyatundibwa.
Ekiwandiiko kino kisomeddwa Minisita w’Amawulire n’Okukunga Abantu era Omwogezi w’Obwakabaka Owek. Israel Kazibwe Kitooke ng’asinziira mu Bulange e Mmengo.

“Wawulikiseewo amaloboozi agagamba nti ettaka ly’Ennyanja ya Kabaka mu Ndeeba, lyatundibwa, ne liguzibwa abantu ab’enjawulo omuli n’Omusumba Robert Kayanja, owa Robert Kayanja Ministries. Ebyogerwa ebyo si bituufu. Obwakabaka bwa Buganda tebuguzanga muntu mulala yenna ttaka, oba ekitundu ku ttaka ly’e Nnyanja ya Kabaka.” Katikkiro Mayiga.
Katikkiro agamba nti Obwakabaka bwa Buganda bulina enteekateeka ey’okugogola n’okulongoosa Ennyanja ya Kabaka, okugitaasa okusaanawo. Kyokka enteekateeka eno ejja kukolebwa nga emitendera gyonna egisaanidde gigobereddwa okusinziira ku bukulu bw’Ennyanja eno.
“Tukimanyi bulungi nnyo nti waliwo abantu abeesenza ku ttaka ly’Ennyanja eyo mu bukyamu, kyokka enteekateeka ez’okubaggyawo zijja kugoberera emitendera egimanyiddwa mu mateeka” Owek. Mayiga.
Kamalabyonna wa Buganda yebazizza ab’ekitongole ki Kampala Capital City Authority olw’enteekateeka gye baliko mu kiseera kino ey’okukola oluguudo oluyita ku nnyanja eno oluyitibwa “Kabaka’s Lake Road” ng’obumu ku buvunaanyizibwa bwe balina mu okutereeza n’okulongoosa enguudo mu Kamplala.
Katikkiro ategeezezza nti okulongoosa kuno kugenda kwongera ekitiibwa ky’Ennyanja n’okutumbula ebyobulambuzi mu kitundu ng’abalambuzi n’abayise batuuka bulungi ku Nnyanja eno.
Owoomumbuga ekiwandiiko akikommekerezza ng’asaba abantu ba Buganda okubeera abakkakkamu, kuba Ennyanja ya Kabaka tetundibwanga era tewali muntu yenna yaweereddwa lukusa okugiddaabiriza mu budde buno.









