• Tutukiriire
Gambuuze
Advertisement
  • Omuko Ogusooka
    Owek. Mayiga akubirizza abakulira Abasomaali okwenyigira mu nteekateeka z’ Obwakabaka

    Owek. Mayiga akubirizza abakulira Abasomaali okwenyigira mu nteekateeka z’ Obwakabaka

    Minisita Anthony Wamala akubirizza abantu okuwandiika ebibakwatako okukuuma omukululo

    Minisita Anthony Wamala akubirizza abantu okuwandiika ebibakwatako okukuuma omukululo

    Owek. Mayanja akunze abantu okukuuma Obutondebwensi

    Owek. Mayanja akunze abantu okukuuma Obutondebwensi

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    Ab’e  Masaka balaajanye mu muwendo gwa baana ogweyongedde

    Ab’e  Masaka balaajanye mu muwendo gwa baana ogweyongedde

    Kaggo Magandaazi atuuzizza Abaami b’emiruka, Abasabye okukuuma  ekitiibwa kya Buganda

    Kaggo Magandaazi atuuzizza Abaami b’emiruka, Abasabye okukuuma  ekitiibwa kya Buganda

    Abantu ba Beene basabiddwa okutumbula obuyonjo nga bayita mu Bulungibwansi

    Abantu ba Beene basabiddwa okutumbula obuyonjo nga bayita mu Bulungibwansi

    Olukiiko olutegesi lulambudde ekifo awanaakwatirwa olunaku lw’Abavubuka mu Buganda

    Olukiiko olutegesi lulambudde ekifo awanaakwatirwa olunaku lw’Abavubuka mu Buganda

    Owek. Kakomo asabye abantu okunnyweza Obumu

    Owek. Kakomo asabye abantu okunnyweza Obumu

  • Agafa e Mengo
  • Emboozi
  • Endowooza
  • Ebisanyusa
  • Ag’Ebweru
  • Ebyemizzanyo
No Result
View All Result

Home Amawulire

Okusabira Omugagga wa Bukoola, Omulangira Kyabaggu

Gambuuze by Gambuuze
September 25, 2025
in Amawulire
0 0
0
Okusabira Omugagga wa Bukoola, Omulangira Kyabaggu
0
SHARES
321
VIEWS
Share on FacebookShare on Twitter

Bya Pauline Nanyonjo

Lubaga – Kyaddondo

Abantu ab’enjawulo batenderezza omutandisi wa Bukoola Chemicals, kkampuni enkozi y’eddagala ly’ebirime era omutandisi wa St. Joseph of Nazareth – Katende, Omulangira kati omugenzi Dr. Paul Mawanda Kyabaggu bwe babadde mu kumusabira mu Ekelezia Lutikko e Lubaga.

Ssaabasumba eyawummula era omubaka wa paapa eyawumula Augustine Kasujja. kubulira kwe asoomoozezza abantu ba Katonda okunyweza okukkiriza kwabwe nga benyigira mu mirimo gy’ekelezia nga bakoppa Omulangira Mawanda Kyabaggu. Ono agamba nti omugenzi abadde kyakulabirako kirungi olw’okwenyigiranga entakera mu mirimo gy’ekelezia.

Ku lwa Katikkiro, Omumyuka w’Omukubiriza w’Olukiiko lwa Buganda Owek. Ahmed Lwasa y’asomye obubaka, mw’alagidde okunyolwa n’okusaasira abenju y’Omulangira kati omugenzi Paul Kyabaggu.

Katikkiro alaze nti Omulangira Kyabaggu yayatiikkirira nnyo ng’omu ku Bannabudddu abagunjawo obusuubuzi mu kibuga Kampala mu myaka gy’e 70. Owoomumbuga asiimye obuyiiya bw’omugenzi olwa kkampuni ya Bukoola Chemicals ejunye ennyo abalimi olw’eddagala ly’ebirime n’ebisolo ate nga bya mutindo omutuufu.

Oweek Mayiga alaze nti omugenzi aweerezza era n’ayagala Obwakabaka ne Kabaka we ”omugenzi ayagadde nnyo Kabaka we era aweseza Nnamulondo ekitiibwa era tumusaalidwa nnyo”.

Katikkiro Mayiga akubagizza Nnamwandu Margaret Kyabaggu era asabye bamukekwa okubeera abakaklamu era bakulembeze ebigambo bya kitaabwe eby’okubeera abakkakamu n’empisa olwo lwe banaatwala omukululo gwe mu maaso.

Nnamwamdu Muky. Margaret Kyabaggu yebazizza nnyo Omwami we olw’okumulonda mu bantu abangi n’amufuula omukyala era ategezeeza nti baakugenda mu maaso n’omukululo gw’alese okugeza nga okuyamba abantu mu byenjigiriza n’ebintu ebirala.

Ku lwa bamulekwa Dr. Peter Kyabaggu atenderezza kitaawe okubagunjula wamu n’okubasomesa engeri gye bayinza okweŋŋanga ensi, “Taata abadde wa nkizo nnyo mu kutugunjula, okutusomesa, okutulaga abantu n’okutulaga engeri gye tusobola okuyita mu nsi era tumwebaliza ddala era ndowooza agenze musanyufu’ Kyabaggu bw’ategeezezza. Ono yeyamwe nti bakwongera kw’ebyo by’alese babitwale mu maaso.

Mmisa yetabiddwamu Nnaabagereka Sylivia Nagginda, Nnalinnya Sarah Kagere, Nnaalinnya Agnes Nabaloga, Omumyuka wa pulezidenti eyawummula Edward Kiwanuka Ssekandi, ba Katikkiro abaawummula Baminisita okuva mu e Mmengo wamu ab’emikwano ne ng9anda z’omugenzi.

Okuziika kwa Lwokutaano e Kanabulemu mu Masaka Buddu

Share this:

  • Tutukiriire

© 2021 Gambuuze - Obwakabaka bwa Buganda.

Welcome Back!

Login to your account below

Forgotten Password?

Retrieve your password

Please enter your username or email address to reset your password.

Log In

Add New Playlist

No Result
View All Result
  • Omuko Ogusooka
  • Agafa e Mengo
  • Emboozi
  • Endowooza
  • Ebisanyusa
  • Ag’Ebweru
  • Ebyemizzanyo

© 2021 Gambuuze - Obwakabaka bwa Buganda.