• Tutukiriire
Gambuuze
Advertisement
  • Omuko Ogusooka
    Owek. Mayiga akubirizza abakulira Abasomaali okwenyigira mu nteekateeka z’ Obwakabaka

    Owek. Mayiga akubirizza abakulira Abasomaali okwenyigira mu nteekateeka z’ Obwakabaka

    Minisita Anthony Wamala akubirizza abantu okuwandiika ebibakwatako okukuuma omukululo

    Minisita Anthony Wamala akubirizza abantu okuwandiika ebibakwatako okukuuma omukululo

    Owek. Mayanja akunze abantu okukuuma Obutondebwensi

    Owek. Mayanja akunze abantu okukuuma Obutondebwensi

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    Ab’e  Masaka balaajanye mu muwendo gwa baana ogweyongedde

    Ab’e  Masaka balaajanye mu muwendo gwa baana ogweyongedde

    Kaggo Magandaazi atuuzizza Abaami b’emiruka, Abasabye okukuuma  ekitiibwa kya Buganda

    Kaggo Magandaazi atuuzizza Abaami b’emiruka, Abasabye okukuuma  ekitiibwa kya Buganda

    Abantu ba Beene basabiddwa okutumbula obuyonjo nga bayita mu Bulungibwansi

    Abantu ba Beene basabiddwa okutumbula obuyonjo nga bayita mu Bulungibwansi

    Olukiiko olutegesi lulambudde ekifo awanaakwatirwa olunaku lw’Abavubuka mu Buganda

    Olukiiko olutegesi lulambudde ekifo awanaakwatirwa olunaku lw’Abavubuka mu Buganda

    Owek. Kakomo asabye abantu okunnyweza Obumu

    Owek. Kakomo asabye abantu okunnyweza Obumu

  • Agafa e Mengo
  • Emboozi
  • Endowooza
  • Ebisanyusa
  • Ag’Ebweru
  • Ebyemizzanyo
No Result
View All Result

Home Amawulire

Omukago gwa Buganda ne EACOP

Gambuuze by Gambuuze
September 24, 2025
in Amawulire
0 0
0
Omukago gwa Buganda ne EACOP
0
SHARES
206
VIEWS
Share on FacebookShare on Twitter

Bya Pauline Nanyonjo

Mmengo – Kyaddondo

Obwakabaka bwa Buganda bisse omukago ne East African Crude Oil Pipeline (EACOP) kmampuni enzimba omudumu ogunayisibwamu amafuta okuva mu bitundu by’e Hoima Bunyoro okutuuka e Tanzania.

Omukago gwa Buganda ne EACOP gulimu okuwagira enteekateeka y’okusimba ekibira kya Kabaka wamu n’okuwagira okuzimbibwa kw’ekisaawe mu Ssaza Buddu.

Mu kujjulira endagaano eno, Katikkiro Charles Peter Mayiga a5nyonyodde nti amafuta galina okuyikulwayo wansi gafunibwemu ensimbi ezinaagasa eggwanga kuba ensi bw’eteeyambisa mukisa gwa buggaga bwa mu ttaka eba teganyuddwa.

“Amafuta tulina ogayikuulayo wansi tugyemu lupiiya tubeeko byetukola nga eggwanga tusobole okuggagawala nga eggwanga” Katikkiro Mayiga bwategezeza.

Kamalabyonna kyokka alabudde nti wateekwa okubaawo obwegendereza mu kuyiikuula obugagga obw’omu ttaka naddala nga basoosoowaza okukuuma obutondebwensi nga n’ensimbi ezinavaamu zikole ebyo ebigasa abantu kinnoomu mu ggwanga naddala abantu amafuta gano gye gava mu Bunyoro nga basoosowazibwa.

Oweek Mayiga akubye abantu bonna mu Uganda akaama okukozesa omukisa oguzze ogw’okuzimba omudumu nga bakola ensimbi okugeza nga balima emmere enaalibwa abakozi b’omudumu guno, okulunda ensolo ze banaalya ate n’emikisa emirala eginajjirako balabe nga bagyeyambisa.

Minisita w’amasanyalase n’ebyobuggaga eby’omu ttaka Hon. Ruth Nankabirwa Ssentamu alaze essanyu nti wakati mu kulwana okukuuma obutondebwensi Obwakabaka bwesowoddeyo okulafubaana okubuzaawo naddala ga wasimbibwawo Ekibira kya Kabaka. Ono asabye bannayuganda bonna okwetaba mu byonna ebinayanjulwa gavumenti basobole okwenogera ku nsimbi nga okulima emmere enaalibwa abakozi nga bakola ku muddumu.

Ye Minisita w’Obutondebwesi mu Buganda Owek. Mariam Nkalubo Mayanja anyonyodde nti okuzimba Ekibira kya Kabaka kya kuyamba nnyo eggwanga lino olw’emiganyulo okuli okufuna empewo ennungi, okuzzaawo amaka g’ensolo n’ebinnyonyi ate n’okufunako eddagala ery’enjawulo. Ono akoowodde buli muntu okwetaba mu kkukuuma ekibira ekinaasimbibwa nga bakuuma obutondebwensi.

Ate Minisita w’ebyemizannyo Owek. Robert Serwanga Ssaalongo alaze nti obuwagizi bwa EACOP mu kuzimba ekisaawe mu Buddu ly’eddala erisooka mu kaweefube w’okuzimba ebisaawe mu masaza gonna 18 nga enteekateeka y’okukulakulanya ebyemizannyo mu Buganda.

Ssenkulu wa EACOP Mw. Guillaume Dulout akinoganyiza nti omukago guno gwoleka okwewaayo kwabwe mu kukyusa embeera z’ebyenfuna y’abantu nga basobola okwebezaawo. Ono era alaze nti balafuubana okuzzaawo obutondebwensi nga basimba emiti kwossa okuwagira ebyemizannyo nga bassa ensimbi mu bintu ebibeerera mu bitundu gye bawangaalirira.

Omukago guno gujjulidwa ebikonge ebyenjawulo omuli baminisita b’e Mmengo, abakugu okuva mu minisitule y’amasanyalaze n’obuggaga obwensibo, aba EACOP n’aba Petroleum Authority of Uganda.

Share this:

  • Tutukiriire

© 2021 Gambuuze - Obwakabaka bwa Buganda.

Welcome Back!

Login to your account below

Forgotten Password?

Retrieve your password

Please enter your username or email address to reset your password.

Log In

Add New Playlist

No Result
View All Result
  • Omuko Ogusooka
  • Agafa e Mengo
  • Emboozi
  • Endowooza
  • Ebisanyusa
  • Ag’Ebweru
  • Ebyemizzanyo

© 2021 Gambuuze - Obwakabaka bwa Buganda.