
Bya Samuel Stuart Jjingo
Gimbo – Busiro
Jajja w’Olulyo Olulangira mu Bwakabaka Ssaalongo Luwangula Basajjansolo atemye evvuunike okutandika kaweefube w’okuzimba Amasiro ga Ssekabaka Ssuuna I (1530-1550) e Gimbo mu Busiro.
Mu kwogerako eri abakunganidde wano, Omulangira Luwangula agamba nti Obwakabaka bweyama okuteekateeka abazzukulu nga buli wamu ne ba Jajja abakulu b’Emituba mu kutembeeta ensonga eno nga batandiika na kuteekawo kapande nga bwekiri ku mbiri zonna.
Ssaalongo akoowodde abazzukulu bonna n’abantu ab’enjawulo okuva mu buli kasonda mu nsi yonna okuvaayo okuwaayo kyebasobola okulaba nga omulimu guno gutambuzibwa. Alabudde abo bonna okusingira ddala abo abakwasibwa embiri zonna obutakola nsobi kwagala kweddiza ttaka okutudde Embuga zino.

Obwakabaka bwatandiika omulimu gw’okuzzaawo n’okuddabiriza Embiri z’aba Ssekabaka bonna okutuuka ku mutendera oguziwesa ekitiibwa okusobola okukuuma obuwangwa n’ennono awamu n’okusikiriza abantu okwetoolola ensi yonna okubirambula n’okumanya ebyafaayo ebikusike.
Ssaalongo Basajjansolo yegatiddwaako ba Jajja abakulu b’Emituba eggya Ssembizzi, Kabi Abalangira n’Abambejja ab’enjawulo olw’obumalirivu bwe balaze okulaba nti omulimu guno gugguka.









