
Bya Pauline Nannyonjo
Mmengo – Bulange
Ku lwa Katikkiro, Minisita w’Amawulire n’Okukunga Abantu era Omwogezi w’Obwakabaka Owek. Israel Kazibwe Kitooke atikudde oluwalo lwa bukadde 77 okuva mu bantu ba Kabaka n’abajjukiza obuteerabiranga bukulu bw’amasiga 3, Buganda kw’etudde.
Mu bubaka eri abantu ba Nnyinimu abajjukiza Ensonga Ssemasonga ettano okutambulizibwa enteekateeka z’Obwakabaka, kyokka essira alitadde ku Ssemasonga esooka ey’Okukuuma okutaasa, n’okunyweza Nnamulondo, alaze nti okusobola okutambuza emirirmu gy’Embuga amasiga 3 gonna gakolera wamu okutambuza emirimu nga ekisinga obukulu kwe kulwanirira ekitiibwa kya Kabaka n’Obwakabaka.
“Amasiga 3; Olulyo Olulangira omuva Kabaka, ery’Abaami omuva Katikkiro n’erya Abataka Abakulu b’Ebika gonna gatambulira okutuusa obuweereza ku bantu ba Buganda, kyokka era n’omukwano gw’abantu ba Buganda, guyambye mu kutambuza Buganda emyaka n’emyaka nti ne mu kiseera eky’okusoomoozebwa mu by’ensimbi abantu ba Kabaka bawaayo oluwalo okuwagira emirimu gya Gavumenti ya Ssaabasajja okutambula” Minisita Kazibwe.

Owek. Kazibwe yebazizza abantu ba Buganda olw’okujjumbira enteekateeka y’Oluwalo ng’agamba nti kino kikolwa ekiraga engeri abantu b’omulembe guno Omutebi gye bafuba okukuuma ekitiibwa kya Buganda. Annyonnyodde nti Buganda ezze eyita mu kusoomoozebwa okw’enjawulo omwali n’okuggyawo Obwakabaka, kyokka ebbanga lyonna abantu ba Buganda bwe bayimirirawo mu bumu Nnamulondo enywera.
Omwami w’Essaza Mawokota Kayima Sarah Nannono akulembeddemu abakiise Embuga olwa leero ategeezeza nti ensonga y’ettaka ekyasumbuwa nnyo Bannamawokota kyokka agamba nti banywevu okulwana ku nsonga eno. Ono ayongedde okweyanza Beene okulengera Abakyala n’abawa ebifo by’obukulembeze eby’enjawulo.
Owek. Nannono yebazizza Katikkiro ne Gavumenti ye olw’okuluŋŋamyanga Abaami bonna mu buweereza bwabwe, kyokka akubirizza Abaami ba Kabaka ku mitendera gyonna okufuba okwegattako omuwendo nga bayita mu nneeyisa zaabwe n’okukola obuvunaanyizibwa Kabaka bwe yabawa mu ngeri ey’omutindo.
Hon. Medard Lubega Ssegona Omubaka wa Busiro East mu Paalamenti y’Eggwanga naye akiise Embuga, asabye abakulembeze abaagala ebifo mu Gavumenti eya wakati okubeera okumpi n’abakulembeze mi Gavumenti ya Kabaka babalungamye my nsonga z’obukulembeze ez’enjawulo. Ono agamba nti nga bwekiri mu buweereza obw’enjawulo mu byenjigiriza oba mu byobulamu beetaaga abaweereza abakugu nga kino ne mu bukulembeze bwe kisaana ababwetabamu babeere abo abalina obukugu.
Ssegona avumiridde enkola ey’okutta omutindo gw’obukulembeze naddala mu Buganda era n’asaba abantu balonde abantu ab’Ensa. Ono asabye n’abantu okunyiikira okukola beewale embeera y’obwavu gy’agambye nti ekoseza ddala enkulaakulana y’Ensi.
Abaami Ab’eggombolola baloopye Embuga ensonga ez’enjawulo omuli abantu ba Ccuucu okuba nti bongedde okujjumbira enteekateeka z’Obwakabaka, kyokka basabye bayambibweko ku kusoomoozebwa kwe bakyalina mu bitundu byabwe naddala obubi bw’ettaka, obw’emmwanyi, abazadde abakyalemereddwa okufaayo ku kusomesa abaana n’ebirala.
Eggombolola ezikiise Embuga; Ssaza Mawokota; Ssaabaddu Kituntu, Ssaabawaali Nkozi ne Mut. II Kirengente, Ssaza Busiro; Ssaabawaali Kasanje ne Ssaabagabo Nsangi, Buddu; Ssaabawaali Bukoto, Kyaddondo; Mut. IV Mukulu wa Kibuga Mengo Lubaga n’Essaza Rocky Mountains USA.
Abakulembeze mu Gavumenti eya wakati ab’enjawulo okuli Mathias Walukagga, Suzan Nakawuki, Owek. Robert Ssebunya beetabye ku mukolo guno.









