• Tutukiriire
Gambuuze
Advertisement
  • Omuko Ogusooka
    Owek. Mayiga akubirizza abakulira Abasomaali okwenyigira mu nteekateeka z’ Obwakabaka

    Minisita Anthony Wamala akubirizza abantu okuwandiika ebibakwatako okukuuma omukululo

    Owek. Mayanja akunze abantu okukuuma Obutondebwensi

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    Ab’e  Masaka balaajanye mu muwendo gwa baana ogweyongedde

    Kaggo Magandaazi atuuzizza Abaami b’emiruka, Abasabye okukuuma  ekitiibwa kya Buganda

    Abantu ba Beene basabiddwa okutumbula obuyonjo nga bayita mu Bulungibwansi

    Olukiiko olutegesi lulambudde ekifo awanaakwatirwa olunaku lw’Abavubuka mu Buganda

    Owek. Kakomo asabye abantu okunnyweza Obumu

  • Agafa e Mengo
  • Emboozi
  • Endowooza
  • Ebisanyusa
  • Ag’Ebweru
  • Ebyemizzanyo
No Result
View All Result

Home Amawulire

Mengo SS ku 130: Katikkiro Mayiga Atongozza Emisinde

Gambuuze by Gambuuze
September 3, 2025
in Amawulire
0 0
0
Mengo SS ku 130: Katikkiro Mayiga Atongozza Emisinde
0
SHARES
270
VIEWS
Share on FacebookShare on Twitter

Bya Miiro Shafik

Mmengo – Bulange

Katikkiro Charles Peter Mayiga atongozza emisinde gy’essomero li Mengo SS eginaabaayo nga 27/09/2025.

Katikkiro Mayiga asinzidde mu Bulange e Mengo bw’abadde akyazizza abamu ku bakulira emirimu egyenjawulo mu ssomero lino abakulembeddwamu Omumyuka w’essomero Muky. Bua Glorious.

“Ebyenjigiriza gwe muyiko mu kuzimba eggwanga, anti omuzimbi ne bw’abeera mulungi atya yeetaaga omuyiko, era ndowooza mu Nsi yonna eby’enjigiriza n’ebyobulamu by’ebintu ebisinga obukulu” Katikkiro Mayiga.

Owoomumbuga agamba nti abantu bonna basaanye okuwagira ebyo ebitumbula ebyenjigiriza kubanga bbyo ky bugagga ekiwanirira enkulaakulana y’Ensi. Awadde ekyokulabirako nti amakampuni mangi okwetoolola Ensi yonna gagenda e China okufunayo abakozi kubanga e China bateeka amaanyi ku byenjigiriza ne bafulumya abantu abalina obukugu mu mirimu mingi ddala ekiyambye n’Ensi yaabwe okukula ku misinde emiyitirivu.

Katikkiro ayogedde ku ssomero lya Mengo SS nga agamu ku masomero agakoze obulungi mu kisaawe ky’ebyenjigiriza mu Uganda. Ayongeddeko nti okuweza emyaka 130 si kitono kubanga abantu bangi abayise mu ssomero lino ne bafuuka ba mugaso mu ggwanga.

Owek. Mayiga akunze Obuganda, n’abantu bonna abalina akakwate ku ssomero li Mengo SS okujjumbira emisinde gino egiruubirira okusonda ensimbi okwongera okugatta ku nkulaakulana eri ku soomero.

Omumyuka w’Omukulu w’essomero muky. Bua Glorious ategeezezza nti mu kujaguza emyaka 130 babadde n’enteekateeka ez’enjawulo omuli n’eno ey’emisinde egyatuumiddwa “Tambula Mengo Run”. Agamba nti mu kujaguza emyaka 130 baayagala okuteekawo ekintu eky’ekijjukizo era ne basalawo okuteekawo ekizimbe gaggadde ekiriko ekifo abaana we baliira emmere, ekifo awolesezebwa ebitone n’ekifo abaana webakolerwa dduyiro, ne kisenge ekisomerwamu ebyuma bikalimagezi ekisobola okutuuza abaana 1000 omulundi gumu.

Ono era yebazizza Obwakabaka bwa Buganda olw’okutambuliranga awamu ne Mengo SS. Essomero lino lyatandikibwawo mu 1895 gy’emyaka 130 egiyise.

Share this:

  • Tutukiriire

© 2021 Gambuuze - Obwakabaka bwa Buganda.

Welcome Back!

Login to your account below

Forgotten Password?

Retrieve your password

Please enter your username or email address to reset your password.

Log In

Add New Playlist