• Tutukiriire
Gambuuze
Advertisement
  • Omuko Ogusooka
    Owek. Mayiga akubirizza abakulira Abasomaali okwenyigira mu nteekateeka z’ Obwakabaka

    Owek. Mayiga akubirizza abakulira Abasomaali okwenyigira mu nteekateeka z’ Obwakabaka

    Minisita Anthony Wamala akubirizza abantu okuwandiika ebibakwatako okukuuma omukululo

    Minisita Anthony Wamala akubirizza abantu okuwandiika ebibakwatako okukuuma omukululo

    Owek. Mayanja akunze abantu okukuuma Obutondebwensi

    Owek. Mayanja akunze abantu okukuuma Obutondebwensi

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    Ab’e  Masaka balaajanye mu muwendo gwa baana ogweyongedde

    Ab’e  Masaka balaajanye mu muwendo gwa baana ogweyongedde

    Kaggo Magandaazi atuuzizza Abaami b’emiruka, Abasabye okukuuma  ekitiibwa kya Buganda

    Kaggo Magandaazi atuuzizza Abaami b’emiruka, Abasabye okukuuma  ekitiibwa kya Buganda

    Abantu ba Beene basabiddwa okutumbula obuyonjo nga bayita mu Bulungibwansi

    Abantu ba Beene basabiddwa okutumbula obuyonjo nga bayita mu Bulungibwansi

    Olukiiko olutegesi lulambudde ekifo awanaakwatirwa olunaku lw’Abavubuka mu Buganda

    Olukiiko olutegesi lulambudde ekifo awanaakwatirwa olunaku lw’Abavubuka mu Buganda

    Owek. Kakomo asabye abantu okunnyweza Obumu

    Owek. Kakomo asabye abantu okunnyweza Obumu

  • Agafa e Mengo
  • Emboozi
  • Endowooza
  • Ebisanyusa
  • Ag’Ebweru
  • Ebyemizzanyo
No Result
View All Result

Home Amawulire

Mukozese ekitono kyemulina mwekulaakulanye – Minisita Kiyimba

Gambuuze by Gambuuze
August 26, 2025
in Amawulire
0 0
0
Mukozese ekitono kyemulina mwekulaakulanye – Minisita Kiyimba
0
SHARES
347
VIEWS
Share on FacebookShare on Twitter

Bya Gerald Mulindwa

Lubaga – Kyaddondo

Owek. Noah Kiyimba asabye abantu ba Kabaka okukozesa empya zaabwe okuyingiza ensimbi naddala nga balima enva endiirwa n’okulunda

Bino Minisita Kiyimba abyogedde bw’abadde alambula abantu abakola emirimu gy’emikono okwebeezaawo mu divizoni ye Lubaga.

Mu baalambudde kuliko alina ejjalulizo ly’obukoko obuto erisangibwa e Nakuwadde, nga bano kaweefube bamutadde nnyo ku kwaluza enkoko Enganda okusinga enzungu. Dr. Dianah Kitonsa, nannyini jjalulizo lino agambye nti nga bayita mu nkola eno, basobodde okufunira abantu emirimu era bangi bongedde ku nnyingiza y’abwe.

Mu balala baalambudde ye Musawo Nakanyike Annet e Namungoona Kigobe, alundira enkoko awafunda era zimuyambye okufuna eky’okulya n’okulabirira abaana. Ate ye Nakato Gloria owe Nakulabye, akozesa oluggya lwe, n’alima sukumawiiki, alunda embaata, enkoko, n’okulima amatooke.

Ate ye Mukyala Annet Kayongo, nga ono Namwandu asangibwa mu Nakulabye, yasalawo okukozesa oluggya okulundiramu eby’ennyanja, okulima enva endiirwa, n’okulunda enkoko. Ono alaze Minisita engeri gy’alundamu eby’ennyanja nga akozesa ebipipa ebitonotono okulembeka amazzi eby’ennyanja bino mwe bikuumirwa.

Minisita Kiyimba era atuuseeko e Kabuusu mu Lubaga mu kifo abavubuka webakolera eby’emikono ebitali bimu okuli; okutunga engatto, ensawo, engoye, n’ebiringa ebyo. Atwala ekifo kino Mw. Gideon Byamureba, ategeezezza nti yasalawo okutandikawo ekifo kino n’ekigendererwa eky’okubangula abavubuka babeeko bye beekolera okuba mu mutwe kisobozese okwongera ku bungi bw’ebintu ebikolebwa mu Uganda mu butale bw’ensi yonna.

Mu bubaka bwe eri abantu bano, Minisita w’Olukiiko, Kabineeti n’ensonga za Woofiisi ya Katikkiro, Oweek Noah Kiyimba, asabye abantu ba Kabaka baddemu balunde enkoko za wano kubanga nnyangu za kulunda ate zivaamu eddagala kubanga zirya omuddo ogwa bulijjo, obuwuka, n’ebikuta ekyanguyira buli muntu okwenyigiramu.

Ono asanyukidde eky’okulaba nti abavubuka be basinze okwenyigira mu mulimu guno nga bassa mu nkola obubaka bwa Kabaka obutakkiriza kuweebwa bunyebwa kubanga basobola okwekolerera bokka na bokka. Agamba nti kaweefube aliwo ensangi zino wa kwerwanako nga abantu bakola ebibatwala mu maaso, era asabye abavubuka okwettanira emirimu gy’emikono nti gino gyeginaababbulula mu nnyanga z’obwavu.

Owek. Kiyimba annyikizza ensonga y’abantu okulonda omuntu oyo ategeera Kabaka, omukozi era ajjumbira ensonga z’obwakabaka nga batwala eky’okulabirako kya Mukyala Dianah Kitonsa afubye okukulaakulanya abantu bonna awatali kusosolamu. Ono era yeebazizza Namwandu Kayongo obuteekubagiza olw’okufa kw’omwami we wabula n’afaayo okwebeezaawo.

Owek. Kiyimba asabye abantu ba Kabaka okukozesa empya zaabwe okuyingiza ensimbi naddala okulima enva endiirwa.

Dr. Dianah Kitonsa, nga y’akulembeddemu kaweefube w’okubangula abantu bano, asabye obwakabaka wabeewo enkolagana nabo basobole okubangula abantu ba Kabaka kibayambe okuvvuunuka obwavu.

Share this:

  • Tutukiriire

© 2021 Gambuuze - Obwakabaka bwa Buganda.

Welcome Back!

Login to your account below

Forgotten Password?

Retrieve your password

Please enter your username or email address to reset your password.

Log In

Add New Playlist

No Result
View All Result
  • Omuko Ogusooka
  • Agafa e Mengo
  • Emboozi
  • Endowooza
  • Ebisanyusa
  • Ag’Ebweru
  • Ebyemizzanyo

© 2021 Gambuuze - Obwakabaka bwa Buganda.