
Bya Munaawa Dan
Ssingo
Ssenkulu w’ekitongole ky’ebyobulambuzi mu Buganda ki Buganda Heritage and Tourism Board Omuk. Najib Nsubuga akubirizza bannalulungi b’ebyobulambuzi mu Buganda okubeera abayiiya era abanyiikivu mu mirimu gye bakola kibayambe okukyusa obulamu bwabwe.
Okwogera bino, abadde ku Bukanaga Agro Farm e Ssingo, ng’alambula emirimu egikolebwa Nnalulungi we Ssingo Nassolo Phoebe Tendo, okuli, okulima emmwanyi okuviira ddala ku mutenderera ogusooka ogw’emmerezo okutuukira ddala okugikungula, okulunda ente, embuzi, enkoko n’ebyennyanja.
Omuk. Nsubuga yebazizza nnyo Nnalulungi Nassolo okubeera omuwala omukozi naddala ku mulembe guno nga abaana abawala abasinga tebakyayagala kulima, era wano yebazizza nnyo bazadde ba Nnalulungi okumuteekateeka obulungi nga bamuyigiriza emirimu gy’obulimi n’obulunzi. Wano wasabidde abazadde bonna wamu ne bannalulungi okufaayo ennyo okuyiga okukola emirimu nga gino kibayambe okubeera ne ssente mu nsawo olwo kikendeeze ku bantu abaagala okubabuzaabuza nga babalimba ensimbi n’ebintu ebirala.
Omuk. Nsubuga asabye bazzade ba Nassolo okwongera obuyiiya mu kulima n’okulunda kwabwe nga bagattamu obulambuzi kibayambe okwongera ku nsimbi. Ategeezeza nti ekitongole ky’akulembera baagala okuyita mu nteekateeka gye bataddewo okulambula emirimu gya Bannalulungi okussa amaanyi ku byobulambuzi ebyesigamizibwa ku bulimi, “AGRO TOURISM” nga mu nkola eno abantu bava gye bavudde ne bagenda ku nnimiro enteeketeeke obulungi ne balambula nga bwe basoma, kiyambeko abalimi okwongera okufuna mu kulima kwabwe.

Nnalulungi we Ssingo Queen Nassolo yebazizza nnyo Ekitongole ky’ebyobulambuzi okuvaayo n’enteekateeka eno era yasiimye nnyo Ssenkulu wamu ne be yatambudde nabo okukkiriza okumulambula n’ategeeza nti tasigadde kyekimu. Asabye bawala banne okwenyigira obutereevu mu mirimu gya famire zaabwe okusobola okutumbula obulamu bwabwe okuviira ddala ewaka. Yeeyamye okukozesa obukugu bwalina mu bulimi n’obulunzi okusomesa abavubuka okwettanira okulima n’okulunda okusobola okuzza Buganda ku ntikko.
Ssentebe w’olukiiko oluteekateeka Nnalulungi w’Ebyolambuzi mu Buganda, Omumbejja Nassolo Faziira asanyukidde nnyo emirimu Nassolo gy’akola era asabye Bannalulungi bonna abaavuganya okuvaayo okwongera okusitula obusobozi bwabwe okuyita mu nteekateeka eno eyatekeddwawo okubayamba okwekiririzaamu n’okumanyika munsi yonna.
Bannalulungi ababadde mu kulambula kuno nabo basanyukidde nnyo obukozi n’obuwulize bwa Nnalulungi munnaabwe ono. Era baasubiza nti ebyo bye basomye ku Nassolo bagenda n’abo kubiteeka mu nkola.

Ekitongole ky’ebyobulambuzi omwaka guno kyavaayo n’enteekateeka y’okulaba nga abawala abavuddeyo okuvuganya mu bwa Nnalulungi w’Ebyobulambuzi mu Buganda tebakoma ku kuvuganya kwokka okufuna engule, wabula n’okulaba nga emirimu gye bakola gitumbulwa okuyita mu kulambula emirimu gyabwe n’okubawagira.Enteekateeka eno yafundikiddwa n’okulambula Ennyanja Wamala ne Smart Beach Hotel e Mitiyana.









