
Bya Miiro Shafik
Ssagala – Busiro
Abakristo mu kkanisa ya St. Philip e Ssagala mu busumba bw’e Jjungo bategese okusaba kw’okwebaza Katonda olw’emirimu gye yakozesa Owek. Kaaya Kavuma Omugenzi kati, nga mu gino mulimu n’okuzimba ekkanisa eno y’ennyini.
Obwakabaka bukiikiriddwa Omumyuka Owookubiri owa Katikkiro Owek. Robert Waggwa Nsibirwa, mu bubaka bwe ayogedde mu mugenzi Kavuma ng’omuntu eyalina okwolesebwa mu bintu bingi ddala omuli n’okutandikawo ekkanisa, okutumbula obulimi n’obusuubuzi bw’emmwanyi mu Busiro, ono yaliko omumyuka wa Katikkiro. Ayongeddeko nti ono yaweereza nnyo ekkanisa, Eggwanga lye Kabaka n’Obwakabaka era yali musaale mu biseera by’okuzzaawo Obwakabaka.
“Owek. Kavuma yayagala nnyo okugatta oluganda, yaweereza nnyo Ekika kye eky’e Nvuma nange mwenva, yasembezanga abantu bonna era nange yannuŋŋamyanga nnyo naddala mu biseera nga ntandise obuweereza mu Bwakabaka” Owek. Nsibirwa.
Owek. Waggwa ategeezeza nti ono yali musajja mukkakkamu nnyo nga teyegulumiza era yakwata ku bulamu bw’abantu bangi nnyo ate nga awa ekyokulabirako ekirungi. Wano wasabidde abakulembeze ku mitendera gyonna nabo okubeera ekyokulabirako balekere awo okuwa eky’okulabirako ku abantu balala kyokka wabula nabo bakole ebyo abantu kwe basinziira okubaweerako eky’okulabirako.
Mu buufu bwe bumu, Owek. Nsibirwa ayogedde ku biseera by’okulonda; avumiridde abantu abavvoola abalala olw’okuba baawukanya endowooza, asabye abalonzi okulonda abantu abategeera Kabaka n’ensonga za Buganda naddala okukyusa embeera z’abantu. Abakubirizza obutakkiriza kubaggya ku mulamwa, basigale nga bakola ebibayamba mu bulamu baleme kwemalamu lwa kalulu wabula bakuume obwa sseruganda mu mbeera zonna.

Hon. Medard Lubega Ssegona omubaka wa Busiro East naye eyetabye mu kusaba kuno, ayogedde ku Owek. Kavuma nga omuntu eyaleka omukululo omunene nnyo omuli n’okutandikawo Busiro Coffee Exporters eyayamba nnyo okukyusa obulamu bw’abalimi, ayongeddeko nti ono yateekateeka bulungi abaana be, bw’atyo akubirizza abantu okuteekateeka abaana obulungi beewale embeera etandise okulabika mu bavubuka abasiiwuuse empisa, ennaku zino.Ono naye asabye abalonzi obutalonda bantu kubayamba wabula balonde abanaakolera obuweereza ku byetaago by’ebitundu byabwe.
Rev. Andrew Kafeero, Omusumba w’Obusumba bw’e Jjungo akubirizza abantu ba Katonda okuyisa obulungi bantu bannaabwe nga Owek. Kavuma bwe yali, ono avumiridde ebikolwa ebikyamu ebirabise ennyo mu bantu ensangi zino naddala abakyala era anokoddeyo; obugayaavu, okuyomba, okubaliga, obujama, okwelaguza, olugambo n’ebirala. Abasabye okwekomako ku bikolwa nga bino badde eri Yesu abakyuse nga bwe ya kyusa Maria Magdalene.
Okusaba kuno kubaddemu ensonga ssatu; okusaba kw’okwebaza olw’obulamu bwa Owek. Kavuma, okubatiza abaana, okukuza olunaku lw’abakyala mu kkanisa eno era wabaddewo n’okusonda ensimbi okwongera okumaliriza ekkanisa eno.









