
Bya Samuel Stuart Jjingo
Abantu ba Katonda mu kkanisa y’Abadiventi bategese okusaba kw’okwebaza Katonda olw’obulamu bwa Ssaabalabirizi w’Ekkanisa y’Abadiventi Pr. Dr. Moses Maka Ndimukika wamu n’okumusibula okugenda mu buweereza ebweru w’eggwanga.
Obwakabaka mu kusaba kuno, bukiikiriddwa Minisita w’Olukiiko, Kabineeti, Abagenyi n’Ensonga ez’Enjawulo mu woofiisi ya Katikkiro Owek. Noah Kiyimba era asomye obubaka bwa Katikkiro.
Katikkiro Charles Peter Mayiga mu bubaka bwe yebazizza Ssaabalabirizi olw’okugatta Obwakabaka n’Ekkanisa y’Abadiventi ky’akoze okumala ekiseera, kinajjukirwa ntine mu kukuza amazaliibwa ga Kabaka ag’emyaka 69, okusaba okwali mu kkanisa y’Abadiventi e Najjanankumbi ono ye yakulemberamu okubuulira.
Pr. Ndimukika yalondeddwa okubeera Ssaabawandiisi w’ettwale erigatta amawanga 13 mu masekati n’obuvanjuba bwa Afrika (ECD) mu Kkanisa y’Abadiventi. Katikkiro asabye Katonda amubeere mu buweereza bw’agenzeemu era ayongere okusakira Ekkanisa nga bw’abadde akola ebbanga lyonna.

Mu bubaka bwe, Ssaabalabirizi Maka yebazizza nnyo abo abamubeleeddewo mu bulabirizi bwe okuli Musumba Kabuye, Dr. Dalton Ssegawa ne famire ya Dr. Luggya n’abasumba abenjawulo, asabye abantu obuteralikirira kubanga Katonda agenda kubawa omuntu omulala ayinza n’okusingawo nga bwakoze.
Bannaddini ab’enjawulo boogedde ku Mulabirizi Maka nga omuntu atadde obusumba bw’Ekkanisa yabwe ku ddala ly’ensi yonna nga ayita mu bukulembeze bwe, okusimba ensonga, okusembeza abakadde mu Kkanisa awamu n’okubagonolako obusumba bamusabidde Katonda amugondezeemu ekkubo ly’akutte.
Omukolo guno gwetabiddwako Katikkiro w’ebyalo bya Kabaka Omuk. Moses Luutu, Minisita w’Ensonga z’Obwapulezidenti mu Gavumenti eyawakati Hon. Babirye Milly Babalanda, bannaddiini ab’enjawulo n’abantu abalala bangi nnyo.Obulabirizi buno buggya kufuna Ssaabalabirizi omuggya mu butongole nga 26 omwezi guno.









