• Tutukiriire
Gambuuze
Advertisement
  • Omuko Ogusooka
    Owek. Mayiga akubirizza abakulira Abasomaali okwenyigira mu nteekateeka z’ Obwakabaka

    Owek. Mayiga akubirizza abakulira Abasomaali okwenyigira mu nteekateeka z’ Obwakabaka

    Minisita Anthony Wamala akubirizza abantu okuwandiika ebibakwatako okukuuma omukululo

    Minisita Anthony Wamala akubirizza abantu okuwandiika ebibakwatako okukuuma omukululo

    Owek. Mayanja akunze abantu okukuuma Obutondebwensi

    Owek. Mayanja akunze abantu okukuuma Obutondebwensi

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    Ab’e  Masaka balaajanye mu muwendo gwa baana ogweyongedde

    Ab’e  Masaka balaajanye mu muwendo gwa baana ogweyongedde

    Kaggo Magandaazi atuuzizza Abaami b’emiruka, Abasabye okukuuma  ekitiibwa kya Buganda

    Kaggo Magandaazi atuuzizza Abaami b’emiruka, Abasabye okukuuma  ekitiibwa kya Buganda

    Abantu ba Beene basabiddwa okutumbula obuyonjo nga bayita mu Bulungibwansi

    Abantu ba Beene basabiddwa okutumbula obuyonjo nga bayita mu Bulungibwansi

    Olukiiko olutegesi lulambudde ekifo awanaakwatirwa olunaku lw’Abavubuka mu Buganda

    Olukiiko olutegesi lulambudde ekifo awanaakwatirwa olunaku lw’Abavubuka mu Buganda

    Owek. Kakomo asabye abantu okunnyweza Obumu

    Owek. Kakomo asabye abantu okunnyweza Obumu

  • Agafa e Mengo
  • Emboozi
  • Endowooza
  • Ebisanyusa
  • Ag’Ebweru
  • Ebyemizzanyo
No Result
View All Result

Home Amawulire

Tuvumirira Abavvoola Eddiini – Katikkiro Mayiga

Gambuuze by Gambuuze
August 16, 2025
in Amawulire
0 0
0
Tuvumirira Abavvoola Eddiini – Katikkiro Mayiga
0
SHARES
402
VIEWS
Share on FacebookShare on Twitter

Bya Miiro Shafik

Bisanje, Masaka – Buddu

Katikkiro Charles Peter Mayiga yetabye mu dduwa y’eyaliko omukulembeze w’Abasiraamu mu Masaka, Sheikh Swaibu Ndugga e Bisanje Masaka mu Buddu.

Owek. Mayiga asinzidde wano n’alaga obwenyamivu olw’abantu abatandise okuvvoola eddiini z’abantu abalala nga basukulumya ezaabwe, bano abasabye okujjukira nti Omutonzi w’e Ggulu n’Ensi ali omu era ye Katonda omu eyatonda abantu bonna.

“Waliwo abantu aboogerera eddiini z’abalala, osanga obutuuti mbu abalokole battunka n’abasiraamu ne webuuza oba Ensi ekyalimu abakulembeze, bino byetaaga okuvumirira” Katikkiro Mayiga.

Owek. Mayiga asabye abantu okwemanyiza okukolagana, okwessaamu ekitiibwa nga bajjukira nti bonna basinza Katonda omu, wabula abaasomesa Katonda be baasomesa mu ngeri ez’enjawulo. Ayongeddeko nti buli muntu akitwale nti eddiini ye y’emutuusa eri Katonda kyokka wabeewo okuteeka ekitiibwa ne mu ndowooza z’abalala.

Katikkiro obubaka bwe abwesigamizza ku Sheikh Ndugga gw’agambye nti yali mugatta ng’assa ekitiibwa mu nzikiriza z’abantu bonna era ng’abasembeza. Ategeezeza nti Sheikh Ndugga yali omu ku bantu abaategeka omukolo gw’okwebaza Katonda e Masaka bwe yali alondeddwa ku bwa Katikkiro newankubadde enteekateeka zonna zaali za kkeleziya. Asabye abantu bonna okujja ekyokuyiga ku nkola ya Sheikh Ndugga.

Katikkiro wano era yebazizza abaana b’Omugenzi okukuuma omukululo gwa Kitaabwe era n’ajjukiza abantu bonna nti bwe bafiirwako abantu baabwe balina okufuba okukuuma ekitiibwa ky’amaka n’okubeera obumu era wano avumiridde abo abatunda eby’obusika olw’okwagala by’ayise eby’amangu.

Supreme Mufti wa Uganda Sheikh Muhammad Galabuzi asinzidde wano n’akubiriza abantu okweyisa obulungi kubanga ebikolwa by’omuntu bisalawo nnyo ku baani abanaakolagana nabo, bwatyo asabye abasiraamu n’abantu mu ddiini zonna okweyisa obulungi okwewala enjawukana ez’engeri yonna.

Ye Bp. Serverus Jjumba omusumba w’e Masaka ate nga ye mukuza w’abaana ba Sheikh Ndugga akubirizza abantu okwagala ennyo obuwangwa bwabwe bw’agambye nti nsonga enkulu ezimbirwako omukwano n’obumu, ono ategeezeza nti ekyabagatta ye Sheikh Ndugga kwe kuba nti ono yali mukoddomi we kyokka omukwano gwanywera nnyo era ne bakola ebintu bingi nga bali wamu.

Bp. Jjumba era akalaatidde abantu okutegekanga okusabira abagenzi, okwabya ennyimbe n’emikolo emirala gy’agambye nti gireetawo omukisa gw’abooluganda okuddamu okusisinkana. Bwatyo yeebaziza abaana b’omugenzi olw’edduwa gye baategese okusabira omwoyo gwa kitaabwe ate nabo okwongera okutabagana ng’abooluganda ate n’emikwano.

Sheikh Hamidu Ssenoga, onomusika wa Sheikh Swaibu Ndugga ku lw’Abenju yebazizza abantu ab’enjawulo abababeerawo okubaluŋŋamya era agamba nti bano babayambye nnyo okukuuma ekifaananyi ekirungi eky’enju ya Sheikh Ndugga. Asuubiza nti baakwongera okufuba okukuuma omukululo gwa Kitaabwe nga bali bumu.

Share this:

  • Tutukiriire

© 2021 Gambuuze - Obwakabaka bwa Buganda.

Welcome Back!

Login to your account below

Forgotten Password?

Retrieve your password

Please enter your username or email address to reset your password.

Log In

Add New Playlist

No Result
View All Result
  • Omuko Ogusooka
  • Agafa e Mengo
  • Emboozi
  • Endowooza
  • Ebisanyusa
  • Ag’Ebweru
  • Ebyemizzanyo

© 2021 Gambuuze - Obwakabaka bwa Buganda.