
Bya Gerald Mulindwa
Nakijju – Gomba
Katikkiro akubirizza ebibiina by’obwegassi okunyweza obwerufu bisobole okuganyula ba mmemba.
Mu nnimiro ya Mw. Buyungo Ssonko Hamis, ku kyalo Nakijju mu ggombolola Ssaabawaali Kyegonza mu Ssaza Gomba, Kamalabyonna Charles Peter Mayiga gy’asinzidde n’akubiriza abalimi okwettanira obwegassi, beewale okwemalirira n’obuteebuuza ku balala nti kino kireeta ensobi ezitali zimu. Agambye nti mu bwegassi osobola okumanya eddagala etuufu eritakosa birime, ebifa mu katale, enkwata ya ssente, n’endokwa ez’omulembe.
Owek. Mayiga era abasabye basimbe emiti mu nnimiro zaabwe gireete ekisiikirize, ate bawakise emmwanyi zaabwe nga bakozesa emizinga gy’enjuki. Abakuutidde okulunda ebisolo okusobola okufuna ebijimusa ebitali bya ddagala.

Katikkiro era akuutidde abakulembeze mu bibiina by’obwegassi okubitambuza mu bwerufu basobole okuwangaala nga bali bumu, babeere n’ebitabo ebiraga ensasaanya n’ennyingiza, bawangane amagezi ku ntambuza n’entereka ya ssente, nga beeyambisa CBS Pewosa Sacco n’ebibiina ebirala.
Buyungo Hamisi Ssonko, ategeezezza Katikkiro nti kaweefube wabwe wa kulwanyisa bwavu, okutumbula akatale ke mmwanyi, n’okusomesa abaana, era mu mmwanyi bafunyemu ebirungi bingi okugeza; abakyala bafunye akassente, pikipiki baziguze okubagondeza mu ntambula, bazimbye amaka ag’omulembe era beefaako mu ndya y’abwe. Wabula amulaze okusomoozebwa kw’ebijimusa ebitali ku mutindo nti bino bizizza nnyo e mabega enteekateeka z’enkulaakulana y’abwe.
Omwami w’essaza Gomba, Mugabi Fred Williams agambye nti ab’e Gomba emmwanyi bazirimye era basigazza kimu kubayigiriza bwebakozesa ssente zebakungudde mu mmwanyi.
Ye Minisita w’Olukiiko, Kabineeti n’ensonga za Woofiisi ya Katikkiro, Oweek Noah Kiyimba, awadde banna Gomba amagezi okunywerera ku bwegassi nga asinziira ku nkulaakulana etuukiddwako ab’e Buddu nga bayita mu bibiina by’obwegassi n’agamba nti obwavu bujjakufuuka lufumo singa abalimi bettanira ebibiina bino.
Mw. Buyungo Hamis Ssonko ye mulimisa w’Essaza Gomba ku kyalo Nakijju, atunda endokwa era ye Ssentebe wa Kyegonza Coffee Farmers Cooperative Society Ltd









