Bya Miiro Shafik
Mmengo – Kyaddondo
Minisita Joseph Kawuki atenderezza okwagala abantu ba Buganda kwe balaga eri Kabaka n’Obwakabaka kw’agambye nti kwe kuzimbye Buganda okutuuka weeri kati.
Owek. Joseph Kawuki ono nga ye Minisita wa Gavumenti ez’Ebitundu, Okulambula kwa Kabaka n’Ensonga za Buganda Ebweru okwogera bino abadde atikkula oluwalo okuva abantu ba Kabaka ab’Essaza Busoga, n’abeggombolola Ssaabawaali Buyikwe abakiise Embuga mu Bulange e Mmengo.
“Obwagazi mu kukola emirimu gy’Obwakabaka, abantu okujjumbira enteekateeka ez’enjawulo nga ey’Oluwalo, okuwaayo Amakula, okwetaba mu misinde gy’amazalibwa ga Kabaka n’enteekateeka endala by’ebimu kw’ebyo ebiraga omukwano kwetuzimbidde Buganda” Minisita Kawuki.
Owek. Kawuki yebazizza Abaami ba Kabaka olw’okukulembera obulungi abantu ba Nnyinimu nga babalaga okwolesebwa kw’Obwakabaka ekyongedde okutumbula obujjumbize mu nteekateeka z’Obwakabaka nga eya ‘Emmwanyi Terimba’, okulwanyisa mukenenya, okutumbula ensomesa y’ebyemikono n’ebirala.

Ku nteekateeka z’okujjukira Amatikkira ga Kabaka omulundi ogwa 32, Minisita Kawuki akubirizza Obuganda okuzijjumbira zonna nga bwe zaalambikiddwa. Mu ngeri y’emu asabye Abaami mu mbeera ey’ebyobufuzi nga bweyimiridde, beewale kyekubiira, baanirize abantu bonna kyokka bakubirize abantu bantu okulonda abo abassa ekitiibwa mu Bwakabaka nga bategeera n’Ensonga za Buganda.
Omwami wa Kabaka ow’Essaza Busoga, Owek. Jane Nakiyingi Bakalikirwa yebazizza Gavumenti ya Kabaka olw’okumubeera mu biseera by’obulwadde by’ayiseemu, n’ategeeza nti embeera ye Kati egenze etereera era ng’oggyeko ate okuba nti n’Omumyuka we yalwadde, emirimu mu Ssaza tegiyimiridde, bakola ekisoboka okwongera okukumaakuma abantu ba Beene.
Ye Omwami w’Eggombolola Ssaabawaali Buyikwe Josephine Nanjebe, aloopye Embuga nti entambuza y’emirimu mu ggombolola eyongedde okulongooka okuva lwe yabakyalira mu mwezi gwa Muzigo n’ayongera okulambika ku nkola y’emirimu. Ategeezezza nti mu kiseera kino bayooyoota Embuga y’eggombolola, bakoze emikago n’ebitongole eby’enjawulo n’enteekateeka endala nnyingi ze baliko okwongera okutumbula entambuza y’emirimu mu ggombolola.
Abantu ba Buganda bano abakiise Embuga baleese oluwalo lwa bukadde 4 n’ensimbi ezisobyemu kyokka nga Ab’eggombolola Ssaabawaali Buyikwe babadde bakiise Embuga omulundi gwakubiri mu mwaka guno nga basooka kukiika mu mwezi gwa Mugulansigo n’ensimbi ezaasoba mu bukadde 8 era kati omugatte baakaleeta obukadde 11 n’okusoba.









