Ababaka ba Palamenti ab’ensi ezaaliko amatwale ga Bungereza bakyaddeko ku Bulange. Ekibinja kino kibadde kikulembeddwamu omubaka omukyala owa district ye Mpigi Hon.Sarah Nakawunde Temulanda ne Hon.Allan Ssewanyana owe Makindye, era nga baaniriziddwa Katikkiro Charles Peter Mayiga, omukubiriza w’olukiiko lwa Buganda Owek Patrick Luwagga Mugumbule n’omumyuka we Owek Ahmed Lwasa.
Katikkiro mu kwogera kwe abayitiddemu era n’abanyonyola ebyafaayo ne gyenvudde w’obwakabaka bwa Buganda. Ye omumyuka wa Katikkiro ow’okubiri era Minisita w’eby’ensimbi Oweek. Robert Waggwa Nsibirwa ayogedde era n’alaga enteekateeka z’obwakabaka wamu n’emirimu Obwakabaka gyebukola okulaba nti abantu ba Buganda badda ku ntikko nga buyita mu kubazimbira enzizi okusobola okufuna amazzi amayonjo, okuzimbira abantu enyumba az’ensimbi ensaamusaamu okusobola okubeera mu bulamu obweyagaza ate nga balamu bulungi.
Oluvanyuma Katikkiro alambuzza ababaka ekisenge ky’olukiiko ekiteesezebwamu (Buganda Parliament) era ne wano ababuulidde ebyafaayo by’olukiiko wamu n’emirembe gya ba Ssekabaka egizze gibeerawo. Ababaka bano bwebavudde ku Bulange balambuziddwa ebintu ebirala omuli Olubiri, Enyanja ya Kabaka, Ebibumbe by’ebika okusobola okulaba emirimu egy’enjawulo egikolebwa Obwakabaka.
Omumyuka wa Katikkiro asooka era Minisita w’eby’emirimu n’obuyiiya, Owek Twaha Kigongo Kaawaase, yakoze nga omukubiriza w’olukiiko ow’ekiseera era yabadde kalabaalaba w’omukolo.
Omukolo gwetabiddwako, Omulangira David Kintu Wasajja, Nnaalinya Sarah Kagere, Owek Bbaale Mugera, Ssaabalangira Godfrey Musanje, Baminisita ba Kabaka, Abataka abakulu b’obusolya, abakulu b’ebitongole by’obwakabaka, n’abaweereza b’obwakabaka.
Ababaka okuva mu nsi ezaali amatwale ga Bungereza bali wano mu Uganda mu lukungaana olubagatta olw’omulundi ogwe 64th (Commonwealth Parliamentary Conference) oluyindira ku speak resort e Munyonyo.