
Bya Gerald Mulindwa
Ggwangamujje Ggwangamujje Boston chapter eteeseteese olusiisira lw’abaana olw’olunaku olumu, olumanyiddwa nga “Ggwangamujje Summer Camp” wansi w’omulamwa; “Buvunaanyizibwa bwange okumanya ki kyendi ng’Omuganda”.
Olusiisira luno lugguddwawo Omuk. Fiona Nattabi Kafeero, mu bubaka bwe akubirizza abaana okussa essira ku nsonga y’okwagala, okukuuma obuwangwa n’ennono za Buganda, n’okwagala Ebika byabwe.
Owek. Henry Ndawula, Omubaka w’Essaza New England, ne Owek. Kato Kajubi omubaka wa Kabaka omuwummuze, nabo bakkaatirizza obukulu bw’ennono n’obuwangwa bwa Buganda.
Rev. Alex Kasirye omu ku boogezi b’Olunaku, ng’ayogerako eri abaana ku mulamwa guno, abategeezezza nti kya makulu nnyo okumanya ebikukwatako ng’omuntu, kubanga ebyo by’ebikufuula kyoli oba kyonaabeera.
“Ebikukwatako bitandikira ku buzaale bwo ng’oli muwere,omusawo bwagamba nti ono azaaliddwa muwala oba mulenzi; Ekika mwova ne kikuwa erinnya n’oluggya mwova, era n’oyogera olulimi olwogelebwa ab’Ekika ekyo, amaka mwozaaliddwa ne gakuwa empisa gye weyisaamu era engeri gye weyisaamu eraga nnyo ebikukwatako” Rev. Kasirye.

Rev Kasirye asabye abaana obutawa muntu yenna mwagaanya kukyusa ebyoebibakwatako kubanga kino bwekikolebwa omuntu abeera ng’atalina buvo na buddo. Awadde ekyokulabirako nti singa omuntu abeera mukozi nnyo, ekyo nakyo kibalirwa ku bimukwatako. Ate gy’okoma okukola ennyo gy’okoma okubeera ne bikukwatako ebiwera. Bw’atyo abakubirizza okufaayo ennyo okukuuma ebibakwatako yonna gye baba bagenze naddala ebyo ebiviira ddala ku buzaale bwabwe.
Abaana basomeseddwa ebikwata ku buwangwa bwabwe, nga okuwaata n’okusiba emmere, okuluka emikeeka, okuluka abaana mu byayi, okukola emipiira mu byayi, okukola ebiwempe, okukuba engoma enganda, okwesa omweso, okusiba busuuti, okukola engoyeeza langi (Tie and Dye), obuyonjo, n’endwadde z’emitwe eziva mu kukozesa ebiragalalagala.
Olusiisira luno lwetabiddwako Ssentebe wa Ggwangamujje, Omuky. Rebbecca Nansasi, Omumyuka we, Omuky.Rhonah Nakalyowa era nga yakuliddemu enteekateeka zino n’olukiiko lwa Gggwanamujje. Abaana basomeseddwa mu mitendera egy’emyaka gyabwe, era ne babuuzibwan’ebibuuzo okumanya biki byebategedde.

Omubaka eyawummula Owek. Kato Kajubi asomesezza ku Bwakabaka n’olulyo olulangira ; Omukungu Fiona Nattabi Kafeero asomesezza ku Bika bya Buganda n’obukulu bw’abyo n’okweyogerako ( okulanya) ng’Abaganda; Omubaka Owek. Henry Ndawula naye asomesezza ku mugaso gw’okuyiga obuwangwa n’ennono.
Ssentebe wa Ggwangamujje Omuk. Rebecca Nansasi n’omumyuka we nabo bayigirizza ku bugunjufu, empisa n’enneeyisa y’Abaganda.Ggwangamujje esiimye abazadde olw’okuwandiisa abaana abaweredde ddala 114 abeetabye mu nteekateeka eno.









