
Bya Pauline Nanyonjo
Bulange, Mmengo – Kyaddondo
Eggombolola okuva masaza ataano (5); Buddu, Ssingo, Mawogola, Butambala ne Mbale ye wavudde abantu ba Beene abaleese oluwalo lwa bukadde ana n’emitwalo kyenda mwebiri (40,920,000) mu nkola ya Luwalo Lwaffe ku Bulange e Mmengo.
Ku lwa Katikkiro, Minisita wa Kabineeti, Olukiiko n’ensonga ez’enjawulo mu woofiisi ya Katikkiro, Oweek Noah Kiyimba y’atikudde oluwalo okuva mu bantu bano abazze okuwagira emirimu egikolebwa Gavumenti ya Ssaabasajja.
Minisita Kiyimba mu bubaka bwe essira alitadde ku bavubuka, bano abajjukiza embalirira y’Obwakabaka eyakasomebwa eya 2025/2026 nga essira liri mu kubakulaakulanya era ono abasabye okwezuula mu busobozi bwabwe nga tebenyooma.
“Abavubuka muleme kwenyoma wabula mwezuule mu buli kintu nga mubeere batetenkanya era abayiiya si kubeera awo nga mulowooza kusabiriza’ Minisita Kiyimba bwategeezezza.
Owek. Kiyimba bano abakunze okwongera okuba abakozi nga tebaddiriza naddala ku kirime ky’emmwaanyi kuba n’Obwakabaka bwakubakwasizaako okuyita mu BUCADEF bongere okweggya mu bwavu wamu n’okugaziya akatale k’emmwaanyi ezigenda ebweru. Wano era akunze abazadde okufuba okuweerera abaana basome kuba ly’ekkubo lyokka erinaabasobozesa okumalako n’Ensi ejjudde ebisoomoza. Eby’okulabirako abawadde ye kennyini nti singa teyasoma teyandifuuse minisita Embuga.
Minisita Kiyimba taleseeyo kukoona ku biseera bya Eggwanga bye lyolekedde ebirimu akayisanyo k’ebyobufuzi, akaama kaabakubye abantu ba Buganda kwe kulonda bantu abasaanidde naddala abo abategeera Kabaka, “mulonde omuntu ategeera Kabaka kuba waliwo abo abavaayo okulima Buganda empindi ku mabega n’olwekyo wano wetulaga muli baddembe okubabuuza mu lwatu webagwa mu nteekateeka za Ssaabasajja Kabaka” Minisita Kiyimba.
Ku lwa Minisita wa Gavumenti ez’ebitundu, Omwogezi w’Obwakabaka Owek. Israel Kazibwe yebazizza alipoota empandiike ezireeteddwa Abaami Ab’eggombolola nga zino ziraga ebituukidwako mu mirimu ate n’ebisoomooza ebyetaaga okolebwako okusobozesa emirimu okutambula obulungi. Abakubirizza okugenda mu maaso n’okuwandiika alipoota olwo Obwakabaka bwongere okumanya emirimu egikolebwa wansi ne biki ebyetaaga okwongerwamu.
Omumyuka Asooka owa Mukwenda Omw. Tusuubira Moses asabye abaami Ab’eggombolola okugoberera enteekateeka ezasibwawo mu kuwaayo ensimbi z’oluwalo nga bakozesa enkola endigito okuli eya bbanka ne ‘Merchant code’ okwewala abafere abayinza okubasuuza ensimbi z’abantu ba Kabaka ze basonze okuwagira emirimu gy’Embuga.
Ye omubaka omukyala ow’e Kiboga Hon. Kaaya Christine Nakimwero alaze essanyu olw’embalirira ya Buganda eyayisibwa ng’agamba nti okuba nti esoosowaza bavubuka ate ng’eraga okugenda mu maaso mu mirimu gy’Obwakabaka kiwa essuubi ddene nnyo mu nkulaakulana y’Eggwanga.
Abantu ba Cuucu abakiise Embuga bavudde mu ggombolola; Mumyuka Lwemiyaga, Mut. III Bukomero, Mut. IX Mulagi, Mut. XIII Kibiga, Ndaggwe, Mut. XXIV ne Mumyuka Wakiso.









